OLUVANYUMA lwa Kkansala akiikirira e Ttendekero lye Makerere ku lukiiko lwa KCCA Doreen Nyanjura okulemererwa okutwala ekifo kyo bwa Sipiika bwe Kibuga Kampala, Loodi Meeya Erias Lukwago amakubagizza n’amulonda okubeera ow’ebyensimbi ne nzirukanya ye mirimu mu kibuga Kampala.
Bino bibaddewo ku mmande wakati ku mukolo ogubadde ogw’ekimpowooze eara nga gwetabiddwako abantu batono ddala, era nga abamu ku ba kkansala tebagwetabyeko.
Ekimu ku byewunyisizza ku mukolo guno kwe kuba nti omukubiriza w’olukiiko lwa KCCA eyakalondebwa Abubaker Kawalya omukolo guno tagwetabyeko ekileseewo abantu okulowooza nti enjawukana mu kkansala zandyeyongera okugenda mu maaso.
Lukwago era alonze kkansala Keneddy Okello okubeera nga yagenda okuvunanyizibwa ku bye nguudo.
Oluvanyuma lwa Nyanjura okugonomolwako ogufo gwe byensimbi, aweze nga bwagenda okugenda mu maaso n’omulimu gw’okulwanyisa obubbi bwe nsimbi mu kitongole kya KCCA, kyagambye nti abaamusuula balabika baalina ekobaane ly’okubba ensimbi nga teri abakuba ku mukono.
Oluvanyuma lw’okulonda olukiiko lw’agenda okuddukanya nalwo emirimu gye kibuga Loodi Meeya Erias Lukwago alabudde ba kkansala ba KCCA okukomya kyayise engambo ezivuddeko okwetematemamu.
Etteka eppya elye kibuga Kampala liwa Loodi Meeya okulonda olukiiko lwalina okukola nalwo emirimu mu bbanga lya nnaku 14 zokka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com