EKITONGOLE kye bigezo mu Ggwanga UNEB kitandise okuwulira emisango egyekuusa ku kukubbira abayizi ebigezo bye kibiina eky’okuna, era nga bano empapula zaabwe zikyakwatiddwa.
Abayizi 1,262 ebigezo byabwe tebyakomawo olw’abakulira okubikebera okukizuula nti waaliwo okukoppa saako n’okulagirirwa okusinziira bukugu bwe baakozesa ne basalawo bisooke bikwatibwe byetegerezebwe.
Ssabawandiisi we kitongole kya UNEB Dan Odong agamba nti abayizi abaafuna obuzibu saako n’abakulira amassomero ago agaliko akakwate baayitiddwa ku kitebe kye kitongole e Ntinda okusobola okubuuzibwa akana n’akataano ku bigambibwa nti amassomero gaabwe n’abayizi beetaba mu mbeera y’okukoppa.
Anyonyodde nti kawefube ono agenda kumalira ddala wiiki nnamba, era nga olukiiko olukulira ekitongole lugenda kwekeneenya saako n’okusoya ebibuuzo abakulira amassomero n’anbayizi, okusobola okuzuula oba ddala tebakoppa bigezo.
“Enkola eno etuyambako nnyo kubanga ne mu kibiina eky’omusanvu twasanga embera yeemu naye bwe twabayita abasinga batunyonyola ne tuzuula ekituufu ebigezo ne tubita kati abayizi baayingira nadda siniya esooka” Odong bwagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com