MINISITULE ye by’obulamu ezzeemu ne kikakasa nga bwetalina ntekateeka yakuzza kuno bayizi abali mu Ggwanga lya China ababadde bamaze ebanga nga bagilajanira ebayambe bakomewo eka olw’obulwadde bwa Corona Virus obwalumba eggwanga lino gye buvuddeko.
Okusinziira ku Minisita we by’obulamu Jane Ruth Acheng agamba nti abayizi abasinga obungi bali mu kibuga Wahum, era nga bono bawerera ddala 105 baagambye nti entekateeka okubayambako yawedde era bagenda kubawereza ensimbi za Uganda obukadde 220 zibayambeko naddala mu kufuna eky’okulya ne byetaago ebilala.
Anyonyodde nti babadde tebanafuna mawulire gonna okuva mu Gavumenti ya China nga gagamba nti bannaUganda abali eyo babajjeyo, nti wabula baafuna mawulire okuva ku Minisita wa China owe by’obulamu nti abayizi bagenda kubakuuma bulungi.
Awabuddemu era nti bbo aba Minisitule ye by’obulamu tebavunanyizibwa buterevu ku bayizi abasomera ebweru we Gwanga nagamba nti Minisitule ye by’enjigiriza yebavunanyizibwako obuterevu.
” Tumaze okukwatagana ne bekikwatako mu Minisitule ye by’enjigiriza okulaba nga ensimbi zituuka ku bayizi abali mu China basobole okweyamba yamba mu byetaago ebibali obubi” Acheng bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com