OMUBAKA Peter Sematimba ebigezo bye kibiina eky’omukaaga bye yatuula omwaka oguwedde bikomyewo nga abiwuuse buva, ono afunye obubonero 13 era nga kati teri agenda kuddamu kumubuuza siniya ya mukaaga.
Sematimba nga ebigezo bino yabituulira mu ssomero elimu mu Disitulikiti ye Luwero afunye obubonero abantu bwe babadde batasuubira ekilaze nti musajja mugezi nnyo, kubanga bigenze okudda nga bwati bwakoze GEP: 6 -(1), CRE: D – (3), LIT: D – (3), ART: B – (5) and CST: 4 – (1) = 13.
Ono yatawanyizibwa nnyo banne bwe baavuganya mu kalulu mu kitundu kye Busiro South era ne bamuwalawala ne bamutwala mu kkooti nga bamulanga obutamalaako S.6 nga akamu ku bukwakkulizo obwetaagisa omuntu yenna okwesimbawo ku kifo ky’obubaka bwa Palimenti.
Mu mwezi gwe kkumi n’ogumu Sematimba nga yakamala okutuula ebigezo yategeeza bannamawulire nti yali asazeewo okutuula ebigezo bye ky’omukaaga nti kubanga abantu b’omu Uganda yagenda okubalaba nga tebamanyi byanjigiriza bya mitala wa Mayanja nti kubanga Diploma gye yalina okuva mu Ttendekero elimu mu Ggwanga lya America baagiwewula naabanga atasomerako ddala.
Yali yakola Diploma mu kukanika ebyuma bi kali magezi mu America, kyokka bwe yawawabirwa nti talina mpapula omulamuzi Lydia Mugambe yali asazeewo okumuggya mu Lukiiko lwe Ggwanga olukulu kyokka najulira okutuusa kkooti ejulirwamu bwe yalangirira nti kituufu empapula azirina.
Ono amanyiddwa nga omu ku babaka abasinga okwogera oluzungu mu Palimenti saako n’okuba omuyonjo ennyo era nga gye buvuddeko yategeeza nti anaaba mu kyenyi kye emirundi 4 buli lunaku, nti era ekyalo kye kiri mu kibuga Boston mu Ggwanga lya America nga wano mu Uganda aba akuba kyeyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com