EKITONGOLE kye bigezo mu Ggwanga UNEB ku lw’okuna kifulumizza ebyava mu bigezo ebyatuulibwa abayizi mu mwaka gwa 2019
Kitegerekese nti abayizi abawala be basinzeeko ku balenzi okuyita mu mwaka guno ate obutafananako nga 2018.
Bwabadde ayanjula ebyava mu bigezo Ssabawandiisi we kitongole kya UNEB Dan Odong agambye nti okusinziira ku muwendo gwa bayizi bonna abatuula ebigezo omwaka ogwaggwa wabaddewo okusereba kutono mu bungi bwa bayizi.
Agambye nti abayizi 104,481 gwe muwendo ogwawamu abewandiisa mu bifo ebyakolebwamu ebibuuzo ebiwerera ddala 1’982, songa 99512 be baatuula ebigezo mu mwaka gwa 2018.
Odong anyonyodde nti abayizi abawala basinze kukola nnyo amasomo ga Sayansi okusingako ku balenzi, songa omwaka ogwaggwa abalenzi beeriisa nkuuli, obutafananako ne kuluno bwe bakoze ennyo amasomo ga ARTS.
Agambye nti ekimu ku bileese abamu ku bayizi okukla obubi kwe kuba nti ebigezo bibuuzibwa mu lulimi lungereza nga abamu ku bayizi tebasobolera ddala kulukyusa kuluzza mu lulimi lwabwe n’oluvanyuma bafune eby’okuddamu ebituufu, naddala ebyo ebyetaaga okulowooza ennyo.
Wano nasaba abasomesa okukomya ensomesa y’okupikaabaana ebintu ebingi ne bibajjula mu mitwe kye yagambye nti kyabaviiriddeko n’okuddamu eby’okuddamu ebifu.
Minisita we byenjigiriza ne mizannyo Janet Kataha Museveni agambye nti musanyufu olwe ngeri abayizi gye beeyongedde okuyita ate naabo abagenze mu matendekero ag’ebyemikono, nagamba nti kino kizzewo olwe nkola gyayise ey’okukendeeza ku bikozesebwa mu minisitule.
Amasomero agasinze okukola obulungi gali mu Disitulikiti okuli Kampala, Wakiso, Mukono, Masaka ne ndala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com