OBUKULEMBEZE bwe kibuga kye Mukono busabye amakkanisa gonna agasangibwa mu kibuuga kino naddala agabalokole kuyimusa omutindo kwebali batukane nembeera y’ekibuga.
Bino byayogeddwa Meeya George Fred Kagimu bwe yabadde atongooza omulimu gw’okuddabiriza ekkanisa ya Mt. Lebanon Church esangibwa ku kyalo Ggunga, mu Mukono Central Division, saako n’okusitula ebizimbe ebiggya ebituukana nomutindo gw’ekibuga nga omulimu gw’akuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi obusoba mu butaano.
Kagimu yagambye nti balina essuubi okulaba nga Mukono mu mwaka gwa 2023 afuulibwa ekibuuga eky’etongodde, nagamba nti nga abakulembeze omusingi balina kugusima kati nga bakyusa ebizimbe ebiri mu kibuga wamu ne ndabiika yabyo nga
n’amakkanisa mwogatwalidde.
Mugeri yemu Kagimu yasabye abalokole okweyisa obulungi nga batuukiriza ebyo byennyini ebibatwala mu masinzizo kubanga bangi obulokole babulaga ku ngulu naye emitima gyabwe nga minyikaavu.
Ono era yategezezza nga bwebatandiika omulimu gw’okusabira e kibuga nti era kawefube ono avuddemu ebibala kubanga batandise okusanga ebyamagero nga okusaddaaka abantu ne ettemu bigenze bikenderera ddala.
Kunsonga ya kasasiro abalokole yabakuutidde obutamala gamansamansa bisaniko buli we basanze kye yayogeddeko nga ekijja okuyamba ennyo okukuuma omutindo gw’obuyonjo bwe kibuga.
Omusumba Samuel Lwandasa nga ono yakulira ekkanisa za Mt. Lebanon asabye amakkanisa obutenyooma yonna gyebali wadde nga bali mu bibaati oba mu miti, nagamba nti Katonda asobola okubakozesa ne bavaayo ate ne bazimba ebizimbe eby’ongera okuweesa Mukama ekitiibwa.
Ono era yasabye abantu okuwangayo ku byabwe awatali kwesasira mbu nze siriina nti kubanga kyamukisa okugaba mu nnyumba ya Katonda okusinga okutoola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com