ABABAKA ba Palimenti abaatandika kawefube w’okujjamu Minisita we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine obwesige ebigambo bikyabasobedde, olwa banaabwe okugaana okuteeka emikono ku biwandiiko ebibasobozesa okukola kino.
Ku ntandikwa ya wiiki eno ababaka nga bakulembeddwamu omubaka wa Makindye East Allan Sewanyana baatandika kawefube w’okukunga babaka banaabwe okusobola okuteeka emikono ku mpapula, nga singa emikono giwera ebitundu ebikkirizibwa mu mateeka baba basobola okuleeta ekiteeso ekimujjamu obwesige nga Minisita we by’okwerinda.
Bano bamulanga okulemesa akakiiko ka Palimenti akakola ku nsonga ze ddembe ly’obuntu aka Palimenti okukola okunoonyereza kwako ku bigambibwa nti ebitongole bye by’okwerinda byali bisusse okulinyirira eddembe ly’obuntu n’okutulugunya bannaUganda.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano bwe baali bakulembeddwamu akulira akakiiko ke ddembe ly’obuntu mu Palimenti Hon. Nantume Egunyu baagenda mu bitundu bye Ggwanga ebyenjawulo nga bagezaako okunoonya ebifo awagambibwa okubeera amayumba mwe baggalira abantu saako n’okubatulugunya ziyite Safe Houses, wabula baasanga mu bifo byonna bisibe era abakuumi tebabaganya kuyingirayo yadde nga basobola okweyanjula.
Mu bitundu bye Kyengera ababaka baatuuka mu kimu ku bifo era Omubaka Nantume ne yeyanjula, wabula abasilikale baamutegeeza nti yalina okusooka okusaba olukusa okuva ewa akulira amaggye balyoke bamuggulire ne banne.
Oluvanyuma ababaka baayita Minisita we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine ne bamukunya, kyokka naabategeeza nti baali tebalina lukusa kugenda mu bifo ebyo, era nakawangamula nti ebifo ebyo gyebili era nti biliwo mu mateeka.
Omubaka akiikirira e Ssaza lye Lwemiyaga mu Palimenti Theodral Sekikubo bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku lw’okutaano ku Palimenti agambye nti ensonga eno bakyagiriko nnyo yadde nga Babaka banaabwe bakyagaanye okussa emikono ku mpapula ezimujjamu obwesige.
Agambye nti basuubira sabiiti ejja okutwala ensonga eno mu lukiiko lwe ggwanga olukulu etesebweko nti kubanga tebajja kukkiriza neyisa ya Minisita gyayogeddeko nga eyisa mu babaka amaaso.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com