ABAKULEMBEZE ba Munisipaari ye Mukono bakombye kw’erima ne beelema okuwayo eddwaliro ely’asumusibwa okutuuka ku mutendera gw’okuba ekkulu mu kitundu (Hospital) gye buvuddeko, nga bagamba nti tebayinza kukkiriza jjoogo lya bakulembeze ba Disitulikiti abagala okutwala bye batakoleredde.
Eddwaliro lino lisangibwa ku kyalo Mulago LC1 mu Division ye Mukono, era nga likola ku balwadde abasoba mu 2000 olunaku nga kwotadde na bakyala abazaala.
Emyaka 6 emabega Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yakyalako mu ddwaliro lino era abakulembeze ba Munisipaari abaaliwo mu kiseera ekyo ne bamuttottolera eby’etaago byonna ebyali byetaagisibwa mu kiseera ekyo, okusobola okutumbula eby’obulamu mu kitundu kya Mukono ne miriraano.
Bano era baamutegeeza nti waaliwo obwetaavu bw’okukuza eddwaliro lino okufuulibwa eddene (Hospital) kubanga baalina ettaka we basobola okuligaziyiza, era Pulezidenti nasuubiza okuddamu okusaba kwabwe.
Omwaka oguwedde ekisuubizo kya Pulezidenti kyatuukirira eddwaliro lino ne likuzibwa, wabula nga 12.12.2019 omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule ye by’obulamu Diana Atwine yawandiikira olukiiko lwa Munisipaari ye Mukono ng’alulagira mbagirawo okuwaayo eddwaliro lino eri obukulembeze bwa Disitulikiti ye Mukono nga yesigama mu tteeka elifuga Gavumenti ezebitundu, eliraga nti eddwaliro bwe lituuka ku mutendera gw’okuba ekkulu mu kitundu lirina kuddukanyizibwa Disitulikiti, ekyatabula abakulembeze ba Munisipaari era ne batuuza olukiiko bunnambiro nga 14.01.2020 okutunula mu nsonga zino.
Olukiiko lwagenda okwabuka nga abakiise bonna awatali kwesalamu basazeewo obutawaayo ddwaliro lino eri obukulembeze bwa Disitulikiti, nga basinziira mu mateeka agafuga Gavumenti ez’ebitundu ge baayogerako nti nabo gabawa enkizo okuddukanya eddwaliro elisumusiddwa mu kawayiro nnamba 243 akatundu 3.
Okuva olwo wabaddewo ebigambo bingi wakati w’akulira abakozi mu Disitulikiti ye Mukono James Nkata wamu n’abamu ku bakulembeze mu munisipaari ye Mukono nga entabwe eva ku CAO okulagira obukulembeze bwe ddwaliro okulyamuka olwo Disitulikiti edde mu mitambo, saako n’okulagira abakozi kweyanjula mu offiisi ye amangu ddala.
Mu bbaluwa Meeya wa Munisipaari ye Mukono George Fred Kagimu gye yawandikidde Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Andrew Ssenyonga nga 10.02.2020 era nga yawereddwako Minisita we by’obulamu n’owa Gavumenti ez’ebitundu yagambye nti ennaku zino ye ne bakulembeze banne babadde bawulira ebibungesebwa nti obukulembeze bwa Munisipaari bwawayo dda eddwaliro eri Disitulikiti, kyagambye nti kikyamu kubanga bakyasibidde ku nsalawo y’olukiiko olwatuula nga 14.
Agambye nti abakozi be ddwaliro lino, saako ne bintu byonna eby’eddwaliro bikyali mu mitambo gya Munisipaari era tebalina ntekateeka yonna ebiwaayo eri Disitulikiti nga bwe bwe byogerwa, nti kubanga byonna babilina mu mateeka agafuga eggwanga Uganda, agafuga Gavumenti ezebitundu saako n’okuwereza abantu mu by’obulamu.
Yenyamidde olw’engeri akulira abakozi ku Disitulikiti gyazze ayogera mu gimu ku mikutu gya mawulire, kye yagambye nti olumu ebigambo byakozesa bibadde biyisa amaaso n’okutyoboola obukulembeze bwa Munisipaari namusaba okukikomya bunnambiro.
“Tusaba bakulembeze bannaffe okukomya okukozesa ebigambo ebilaga nti beddiza obukulembeze bwe ddwaliro lyaffe, ekyo tekibangawo kubanga ffe tukyalitambuza era tetulina kirowozo kyonna kyakuliwa muntu mulala yenna, kubanga amateeka gatuwa obuyinza obwenkomeredde” Kagimu bwe yagambye.
Okunonyereza kulaze nti mu bitundu bye Ggwanga waliwo Munisipaari ezeddukanyiza amalwaliro amakulu mu bitundu byabwe okuli Mbale, Rukungiri, Koboko n’awalala.
Kinajjukirwa nti olukiiko lwa Munisipaari ye Mukono lwakola nnyo mu kufuna ekyapa okutudde eddwaliro lino nga kino kibadde kimaze ebbanga elisukka mu myaka 30 nga tebakirina.
Era kubadde kufuba kwa bakulembeze saako n’abakozi ba Munisipaari okusobola okulwana okuzimba ebizimbe eby’omulembe saako n’okutumbula eby’obulamu mu kibuga kye mukono ne miriraano.
Disitulikiti ye Mukono elina amalwaliro agetaaga okufuna obuyambi okuli Nakifuma ne Kojja Health centre iv nago gatuukane n’omulembe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com