ABAKULEMBEZE ab’enjawulo mu mawanga ga Africa ettuntu ly’olwobubiri beegasse ku bannansi be Ggwanga lya Kenya okukungubagira eyali omukulembeze waabwe ow’okubiri omugenzi Daniel Torotichi Arap Moi eyafa sabiiti ewedde.
Wakati mu kusaba okubadde mu kisaawe galikwoleka eky’eGgwanga lya Kenya ekimanyiddwanga Nyayo Stadium abakulembeze okubadde owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni, owa Southern Sudan Salva Myadit Kir, owa Rwanda Paulo Kagame nabalala batenderezza Moi olw’omutima gw’okwegatta gwe yalina saako n’okukulakulanya eggwanga lya Kenya ne East Africa okutwalira awamu.
Pulezidenti wa Kenya Uhuru Kenyatta nga yabadde kalabalaba w’omukolo agambye nti Moi ssi mukulembeze mwangu wa kuzzaawo olw’obumalirivu n’okwagaliza eggwanga bye yakolera Kenya era nga abakulembeze abasinga mu Kenya ekiseera kino bonna baayita mu mikono gye era yabalera nga abaana.
“Pulezident Moi abadde kitaffe ffenna abakulembeze ba Kenya, yasima omusingi mulungi ogw’ebyobukulembeze ffenna kwe tutambulira, yatumbula eby’enfuna bye Ggwanga lino, yasomesa bannaKenya bangi ne bilala nkumu bye yakola.
Naye tukkiriza nti buli akaola ekilungi mukama amala namutwala, tuamanyi nti agenze asisinkane Katonda we era bulijjo tuli mujjukiranga olw’ebirungi bye yakolera eggwanga lyattu Kenya” Bwatyo Kenyatta bwayogedde ku bulamu bw’omugenzi Daniel Arap Moi.
Pulezidenti Museven wayitiddwa okwogerako eri abakungubazi naye alaze ebilungi n’omutima gwa Africa eyawamu Moi gw’abadde nagwo, nagamba nti ono yatakabanira nnyo okwegatta kwa mawanga ga East Africa ne kigendererwa eky’okusitula omutindo gwe bye nfuna ebyawamu nga biyita mu kusubulagana.
Asasidde aba Famire ya Moi saako ne bannaKenya bonna.
Okuziika Moi kwa lunaku lwa nkya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com