ABAKULEMBEZE mu Kibiina ekisinga obukadde mu Ggwanga ekya Democratic Party DP, kyaddaaki bafunye okukkaanya, saako n’okukomya okwelumaluma okubadde kugenda mu maaso wakati waabwe n’omukulembeze we kibiina Norbert Mao.
Bino babituuseeko ku lw’okuna mu lukiiko olwatudde ku woteeri ya Pope Paul mu Kampala nga lwetabyemu abakiise mu Palimenti aba DP saako n’omukulembeze wabwe Norbert Mao.
Olukiiko luno okutuula kidiridde abakiise mu Palimenti okuvaayo mu lujjudde ne balangira akulira ekibiina Mao okuwabya ekibiina saako n’okukitambuza nga bwayagala awatali kuwabulwa yadde.
Kino nga kye kyavuddeko okubayita ne babaako ekisenge mwe beggalidde, okusobola okwogera ku nsonga ezibadde zivaako obutakkaanya, omutakkiriziddwa bannamawulire.
Wabula oluvanyuma nga bamaze Mao yayogeddeko eri bannamawulire nagamba nti ebimu ku bye bakkanyizaako kwe kulaba nga bakomya okweyogerera ebisongovu, era nagamba nti kituufu babadde balina okukikomya nga bwe bajja okukwata ku nsonga zonna ezibasoomoza nga bali wamu awatali njawukana.
Yanyonyodde nti mu lukiiko luno bannakiiina era bakkanyizza okukola ku nsonga ze lkibiina ezibadde zitagenda bulungi, naddala ez’okulonda okubadde kugenda mu maaso mu kibiina okwetoloola e Ggwanga.
“Omulimu gwanga omukulu nga omukulembeze kugonjoola nsonga, era zonna ezibadde ziruma banange nzikutteko kisajja kikulu, era ndabye abantu bwe tuabadde tetulima kambugu ate nga baleeta ebirowoozo ebirungi ebijja okututwala mu maaso” Mao bwe yagambye.
Wabula yadde nga ababaka abasinga mu kabondo ka DP mu Palimenti olukiiko luno baalwetabyemu, kyokka era waliwo abatalulinyemu, kyokka Ssentebe waabwe Joseph Sewungu Gonzaga yagambye nti abatabaddewo bonna baakikiriddwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com