PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo natabukira abakulira abakozi mu zi Disitulikiti beyayogeddeko nti bano bamusobedde kubanga batunula butunuzi nga obutonde bwe Nsi buggwawo, songa bebalina obuyinza obwamaanyi okulaba nga babukuuma obutasanyizibwawo.
Museveni agamba nti kuluno tagenda kukkiriza muntu yenna kaabe musiga nsimbi eyefunyiridde okusanyawo olutobazi oba ekibira, nagamba nti naabo babadde balimira mu mattaka ge bibira balina okukikomya mangu ddala.
Yagambye nti abo balinamu emmere yaabwe bagikungule bagirye eggwemu oluvanyuma ebibira byonna babyamuke bunnambiro.
“Mwe ba CAO omulimu gwammwe sikyagutegeera amateeka gonna mugamanyi bulungi, naye mweremye okugateeka mu nkola, entobazi, ebibira biggwawo naye tewali kye mukola, sigenda namwe kubagumikiriza ku bikwata ku kusanyawo obutonde bwe nsi” Museveni bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde Nakaseke ku mukolo ogwategekeddwa Gavumenti okukuza olunaku lwa maggye ga NRA lwe balumba enkambi yamaggye e Kabamba mu Mubende nga batandika olutalo olewaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza, olumanyiddwa nga TAREHE SITA.
Museveni era yakyukidde abakulira eby’obukessi ku mutendera gwa magombolola ba GISO nagamba nti bano nabo ennaku zino emirimu bagivaako, ne basalawo kudda mu nsonga za ttaka zokka ne balekerera okufuna amawulire agayamba okutangira ebikolwa eby’obumenyi bwa mateeka, nagamba nti nabo amanyi eky’okubakolera mu bbanga ssi lya wala.
Museveni yagabye emidaali nga akabonero ak’okusiima abantu abayambako mu lutalo luno.
Kinajjukirwa nti olutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza lwatandikira mu nkambi ya maggye e Kabamba, era abayekera olwamala okuwamba enkambi ne bajjamu emmere ne mmundu okwongera ku ezo ze baali nazo awo ne boolekera e Kiboga gye basinziira okulangirira mu butongole nti bafuuse kiwayi kya bayekera ne kigendererwa okumamulako Gavumenti ya Apollo Militon Obote eyali mu buyinza mu kiseera ekyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com