EBY’OBUFUZI mu Disitulikiti ye Mukono buli olukya byeyongeramu ebbugumu, wakati nga akalulu ka 2021 kanatera okujjibwako akawuwo abantu abenjawulo batandise okwesowolayo okuvuganya mu bifo eby’enjawulo.
Mukono kati alimu amagombolola 18, obutafananako ne luli wabadde nga alina 15 gokka, kino kitegeeza nti abantu beeyongedde obungi saako ne nkulakulana ey’omuggundu.
Olwalero tukuletedde omulangira Jonathan Mawanda munnaNRM ayagala entebe ya Disitulikiti ye Mukono, nga ekifo mu kiseera kino kilimu era munnaNRM Andrew Ssenyonga.
Mawanda gwe twasanze ku ssomero ly’addukanya elya St. Stephens elisangibwa ku kyalo Ddandira e Mukono ku lw’omukaaga yatutegezezza bwati ebimukwatako:
Ye nze Omulangira Jonathan Mawanda, Nazaalibwa nga ennaku z’omwezi 1.10.1978 ku kyalo Kitega ekisangibwa mu Division ye Mukono.
Bazadde bange be bagenzi omulangira Isaac Jjunju n’omuzaana Florence Kizito, mu maka ga kitange nze mwana asooka kwabo 6 kitange ne mmange be bazaala.
Okukula kwange nakula nga abaana balala bonna ku kyalo kitega, era eby’okusoma byange ne mbitandikira mu ssomero lya Bweyogerere Church Of Uganda Primary elisangibwa ku kyalo Kakajjo, era eyo gye natuulira ekibiina ky’omusanvu, Siniya esooka okutuuka ku y’okuna nasomera ku ssomero lya kitange lye yali atandise mu kiseera ekyo St. Stephens SS Ddandira Mukono, oluvanyuma neegatta ku Caltec Academy e Makerere gye nakolera siniya yange ey’omukaaga.
Ebibuuzo byagenda okudda nga mpise bulungi ddala, era bazadde bange ne bantwala mu Ttendekero lya basomesa elya Mubende PTC ne nkola Diploma mu byenjigiriza, bwe nagimaliriza nakomawo ku kyalo Ddandira ne ntandika okusomesa ku ssomero lya bakadde bange era mu kiseera ekyo buli kimu ekikwatagana ku bye nsomesa nabyenyigiramu butereevu nga ne mikwano gyange mingi egy’ayambibwa okusoma kubanga nali mukono gwa ddyo eri essomero ne kitundu kye Mukono.
Nakizuula nti nali neetaga okwongera ku bitabo era neegatta ku Ttendekero lye Kyambogo ne nkola Diguli yange esooka mu busomesa, era olwagimaliriza ne nkomawo ku St. Stephens ne nkwasibwa omulimu gw’okulikulira nga omukulu we Ssomero okuva mu 2003 okutuuka kati.
Omulangira Mawanda lwaki asalawo okufuuka omusomesa
Ezimu ku nsonga lwaki nasalawo okufuuka omusomesa neesanga nga nkuze ndaba kitange Omulangira Jjunju addukanya essomero, era essomero lino elya St. Stephens yalijjangamu ensimbi ezatusomesanga ne baganda bange, okutuliisa saako n’okufuna ebyetaago byonna awatali kuwanka wanka, bwentyo ne njagala omulimu gw’obusomesa kuba nali nkizudde nti gufuna.
Ekilala nayagalanga nnyo okusoma era nayagala nnyo mikwano gyange be tukuze nabo ku kyalo basomeko wakiri batuukeko mu siniya ey’okuna, kubanga mu kiseera ekyo abaana bangi baali bakoma mu kibiina ky’amusanvu bazadde baabwe obusobozi ne bubabula.
Nakolanga ekyetagisa kyonna nga ndi mu siniya ey’okuna okuyamba banange okubayitiramu mu bisomeseddwa saako n’okuboogererangayo ewa taata agumiikirize bazadde baabwe aleme kubagoba bisale bya ssomero.
Era bwe namaliriza okusoma ne nkwata omulimu gw’okuddukanya essomero lino nasalawo okukyusa buli kintu wano, kubanga nali maze okulaba ku baana ba bantu bwe balemererwa okusoma olwa sente, ne ntuula ne banange ne tusalawo okugondeza gondeza ku bazadde era ku ssomero lya St. Stephens, abazadde abalimi abamu tubategeeza ne baleeta emmere enkalu ne tugibaliriramu sente baana baabwe ne basobola okusoma, abalala abalina ebintu nga omusenyu, bbulooka n’amayinja nabo tutegeragana nabo ne tubawa ne ntambula nga yabwerere ebileeta ku ssomero wano abaana ne basoma nga teri abakuba ku mukono.
Nakizuula nti enkola eno nnungi nnyo kubanga etekawo obwa seruganda wakati w’omuzadde, omwana saako n’abasomesa.
Omulangira Mawanda n’eby’obukulembeze
Natandika obukulembeze nga ndi bweyogerere mu Pulayimale yange, mu mwaka gwa 1991 nze nali nkulira abayizi mu ssomero lya Bweyogerere Church Of Uganda, bwe nayingira Siniya ku St. Stephens mu kibiina eky’okusatu nze nali nkulira abayizi abalenzi mu ssomero, ate e Mubende PTC nze nali omuwandiisi ku lukiiko olufuga abvayizi mu kiseera ekyo era twakolayo emirimu mingi n’okutuuka kati omwaka gwaffe bakyatujjukira.
Eby’obukulembeze eby’ensi sitandika bitandike nga abamu bwe balowooza, bulijjo mbadde mwendi munda era nga ntekamu obudde ne nsimbi okulaba nga abantu be njagala bonna bayitamu, nga n’ezimu ku nkiiko ez’omunda ennyo ez’ekibiina kya NRM zibadde nzituuza ku ssomero lyange ne tutema empenda z’okuwangula era ne tuwangula, kyova olaba nti kati nange nesowoddeyo okulaba nga mbaako ettafaari lye nteeka ku kitundu kyange mwe nzalibwa ekya Mukono.
Omulangira Mawanda byatekateeka okukolera Mukono.
Singa nfuna omukisa ne nnondebwa okufuuka Ssentebe wa Mukono addako njagala okulaba nga abantu baffe tubateekateeka engeri ekibuga gye kigaziye kibasange nga batudde ntende era bakfunemu sso ssi nti bwe kijja kibasindike mu kyalo.
Okutuusa obuwereza ku muntu wa wansi, njagala okulaba nga buli kantu omukulembeze waffe kaata okudda eri omuntu wa bulijjo nga kamutuukako nga tekakonjoboddwako nga bwe mbiwulira abaliko bwe bakola kati, abakadde, abalema, abakyala n’abavubuka bonna bafune kye balina okufuna.
Amazzi amayonjo, Njagala okulaba nga abantu baffe mu byalo bafuna essuubi ly’okunywa ku mazzi amayonjo ekirungi nti Ssentebe eyaliwo Francis Lukooya Mukoome yaleka aguze ekyuma ekisima amazzi, kati twagala kikole omulimu gwe nnyini ogwakiguzisa bannaMukono bafunemu.
Enguudo ez’omulembe,
Engeri Mukono gyeli Disitulikiti eyimiriddewo ku by’obulimi enguudo ennungi kintu kikulu nnyo kubanga abalimi n’abasuubuzi bajja kuba nga basobola okutambuza ebyamaguzi byabwe okubitwala mu butale bafune ku nsimbi ezegasa.
Eby’enjigiriza, Engeri gye ndi omusomesa omutendeke nina okulaba mu maanyi gange nga Ssentebe wa Disitulikiti nga ntandikawo amassomero g’ebyemikono okusobola okuyamba ku baana baffe abakoma mu bibiina ebyawansi nabo basobole okufuna omukisa okuyiga emirimu egy’emikono basobole okweyimirizaawo.
Ensonga y’okuyambako ku baana basoma eyo ngenda kugikwatako kubanga eby’enjigiriza ge maanyi gange, nina okulaba nga njogera ne bannanyini massomero banange twegatte tuyambeko okusomesa omwana we Ggwanga omunaku.
NRM KYE KIBIINA KYANGE
Nze okuva edda ekibiina kye by’obufuzi kyange ye NRM ne Pulezidenti Museveni, olw’okuba nkimanyi nti musajja ayagaliza nange njagala nkoleko naye tusobole okusitula Mukono addeyo nga bwe yali mu myaka gye dda nga yeemu ku Disitulikiti ez’ogerwako.
Mawanda Musajja mufumbo era mukyalawe ye Muzaana Dinna Mawanda era alina n’abaana.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com