Mu mwezi gw’omwenda omwaka gwa 2016 Omuvubuka Keneth Akena yakubwa amasasi agamujja mu bulamu bwe Nsi, nga kigambibwa nti yali aliko emmotoka y’omuntu gyatomedde, oluvanyuma bwe yafuluma amwetondere nnyini mmotoka yasalawo kumukuba masasi.
Ensonga zino zonna olwagwa Poliisi mu matu batandikirawo okunoonyereza era ne bakwata Mathew Kanyamunyu, muganziwe Cynthia Munwangari enzaalwa ya Burundi saako ne muganda wa Kanyamunyu amanyiddwanga Joseph Kanyamunyu.
Baggulwako omusango gw’okutta omuntu oluvanyuama ne bateebwa ku kakalu ka kkooti, nga kati bawoza bava bweru.
Bano okukwatibwa kigambibwa nti Omugenzi Akena yabalookooma nti be baali bamukubye amasasi, era nga kigambibwa nti nga tanafa yategeeza abasawo nti Kanyamunyu yenyini yeyamukuba amasasi bwe yali agenze okumwetondera oluvanyuma lw’okutomera emmotoka ye mu butanwa mu kibangirizi kya Lugogo mall mu Kampala.
Kinajjukirwa nti Kanyamunyu ne muganziwe Cynthia be baayoolayoola Akena ne bamutwala mu ddwaliro lya Victoria Clinic, oluvanyuma ne bamwongerayo mu ddwaliro lya Nakasero Hospital gye yaggibwa natwalibwa ku Norvik Hospital elisangibwa ku Bombo Road gye yafiira ku lunaku olwaddirira.
Okuva omusango guno bwe gwatandika okuwulirwa bannaUganda babadde baagala nnyo okumanya biki ebigenda mu maaso era nga bagamba nti baagala obwenkanya ku Akena eyali omulwanirizi we ddembe lya baana bubeewo.
Wabula ku ntandikwa y’omwezi guno wakati nga omusango gugenda mu maaso n’okuwulirwa mu kkooti enkulu, omu ku bajulizi mu musango guno atayagadde kumwatuukiriza mannya olwe nsonga z’ebyokwerinda yawunikirizza abaabadde mu kkooti, bwe yagambye nti wakati mu kwekebejja omulambo gwa Akena, mu lubuto mwasangibwamu ebyuma ebikozesebwa mu kulongoosa ebyenda 2 ebiweza yinsi 6, enkampa ezikozesebwa mu kulongoosa saako n’obugoye 7 obwakozesebwa mu kuziyiza omusaayi okufuluma(Tawulo), nagamba nti bino byonna byazuulibwa munda mu lubuto lwa musajja wattu Akena, mu kiseera kino nga ab’oluganda lwe bafuba okufuna obwenkanya.
Omujulizi ono okwogera bino yabadde alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Steven Mubiru mu kkooti enkulu ewozesa emisango gy’obutemu mu Kampala, ne kigendererwa eky’okuwaayo obujulizi mu musango guno.
Ono yoomu ku bakugu abaakola ku kwekebejja omulambo gwa Akena nga 13.11.2016 nga wayise olunaku lumu lwokka nga amaze okufiira ku ddwaliro lya Norvik mu Kampala, nga kino kye kimu ku binyusi mu musango guno ebyetaaga okwetegereza n’obwegendereza ennyo.
Kino kyandileetawo ezimu ku nsonga ezibadde zisinga okwesigamizibwako okufa kwa Akena okukyuka, kubanga ate walabiseewo engeri y’okuba nti wandibaawo engeri omulwadde gye yalagajjalirwamu abasawo abasooka okumukolako, ekyamuviirako okufa, kubanga eby’uma ebikozesebwa mu kulongoosa 2, enkampa ne Tawulo 7 okusangibwa munda mu lubuto lw’omufu kileetawo ebibuuzo bingi ku nfa ye, kubanga yategeeza abasawo nti yali akubiddwa masasi.
Kino era kyongera okuleetawo ekibuuzo nti abantu bangi mu Uganda bakubiddwa amasasi era ne bakolwako abasawo ne bawona, lwaki bano abasooka okumukolako nga abatwaliddwa tebasobola kulwana kutaasa bulamu bwe?
Omusawo omukugu mu kulongoosa ayogedde.
Okusinziira ku musawo naye atayagadde ku mwasanguza mannya yategezezza omukutu gwa mawulire guno nti, bwe kiba kituufu nti waliwo ebintu omuli ne byuma ebyalekebwa mu lubuto lwa Akena, kitegeeza nti wateekwa okuba nti waaliwo obulagajjavu obwekika ekya waggulu mu basawo abaakola ku kulongoosa omugenzi mu kusooka.
“ Buli lwe tuba nga tulina omuntu ali obubi ku meeza yaffe, tewali kitwetaagisa kupapa nnyo, wabula tugenda mu maaso ne tukola mu nkola eyabulijjo mpola mpola okusobola okutaasa obulamu bw’omuntu oyo, kubanga ekigendererwa ekisooka kuba kutaasa bulamu.
Mu ngeri yeemu era yadde omulwadde waffe aba afudde tuba kitukakatako okumujjamu buli kintu kyona ekikozesebwa mu kulongoosa, era tulina ne wetuwandiika buli kikozesewa kye tuba tujje mu muntu ne tugerageranya kwebyo bye twatandise nabyo, eyo ye nkola entuufu.
Ka bube buno obugoye bwe tukozesa okukwata omusaayi nga tulongoosa (Surgical Mops) nabwo tulina okububala era ne tubujjamu bwonna.
Ebintu bino bwe bisangibwa mu mubiri gw’omuntu nga afudde kiba kilaga nti wabaddewo obulagajjavu, era kileetawo okwebuuza saako n’ononyereza kun kola abakoze ku kulongoosa gye bakozeemu” Omukugu bwe yanyonyodde.
Yawumbye wumbye nga agamba nti ssi nkola ya basawo okuleka ebikozesebwa mu kulongoosa munda mu mibiri gy’abantu era kivumirirwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com