SSABAWANDIISI we kibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba alabudde abakozi ku Ggwandisizo lya NRM abagenda okulabirira abagenyi mu ttabamiruka we kibiina agenda okubaawo ku lw’omukaaga luno e Namboole, nagamba nti abanalemwa okutuukiriza emirimu gyabwe obulungi ssi bakugumikirizibwa bajja kukwatibwa babonerezebwe.
Okwogera bino abadde asisinkanye abakozi bonna abagenda okuvunanyizibwa ku bintu eby’enjawulo mu ttabamiruka, saako n’okuyita mu bigenda okukolebwa ku lunako lw’omukaaga n’olwokutaano akawungeezi.
Olukiikoluno era lwetabiddwamu n’abakozi mu office ya Ssentebe we kibiina e Kyambogo saako n’abakakiiko ke by’okulonda aka NRM.
Wano Lumumba wasinzidde nategeeza nti omwaka guno gugenda kubeera gwa kayisanyo kubanga gulimu emirimu gye kibiina mingi omuli okulonda kwa kamyufu, nasaba abakozi ba kakiiko bulijjo okukuuma empisa nga bakola emirimu gyabwe, nga kino klina okusooka okweyolekera mu ttaba miruka ono asoose mu kisanja kino nga bayisa bulungi abantu bonna abagenda okumwetabamu.
Anyonyodde nti abakiise bonna balina okufuna zi kaadi ezibayingiza e Namboole ku lunaku lw’okutaano e Kololo saako n’ebikozesebwa byonna nalabula abakozi obutetantala kukwata yadde ku kimu.
“Tetugenda kuttira muntu yenna ku riiso, bwonasangibwa nga oliko ky’obuzizzabuzizza ab’ebyokwerinda bagenda kukukwata oggulweko emisango, nga kino tukikoze okulaba nga ebintu bitambula bulungi” Lumumba bwagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com