OMUBAKA wa Kyadondo East mu Palimenti era alubirirwa okuvuganya ku bukulembeze bwe Ggwanga Robert Kyagulanyi Sentamu, asazeewo okuddamu okukola entekateeka endala mwagenda okuyita okwebuuza ku bantu, oluvanyuama lwe yasooka okugwa obutaka Poliisi n’amaggye bwe bamulemesa.
Ku mande ya wiiki eno Kyagulanyi yali ategese olukungaana ku kisaawe kye ssomero lya Our Lady of Good Counsel e Gayaza, nga yebuuza ku bantu ku nsonga y’okwesimbawo ku bukulembeze bwe Ggwanga, kyokka Poliisi neelulinnyamu eggere nga egamba nti yali tagoberedde mateeka.
Wano abamu ku bawagizi be baakwatibwa era ne baggalirwa mu makomera egenjawulo nga kwotadde naye kenyini eyaggalirwa ku Poliisi ye Naggalama.
Poliisi kuno yagattako n’okumulemesa enkungaana endala ze yali ategese mu Disitulikiti ye Gulu saako ne Lira nga egamba nti yali tatuukirizza bisanyizo.
Wabula Kyagulanyi oluvanyuma lw’okutuula nabakulira akakiiko ke by’okulonda ne Poliisi ku lw’okuna ne bagayagaaya mu nsonga lwaki ebitongole by’okwerinda bibadde bilemesa enkungaana ze, ate nga yali amaze okubategeezaako nga ayita mu mateeka.
Bwabadde nga ayogerako ne bannamawulire abamusanze ku offiisi ze kisinde kya People Power e Kamwokya Kyagulanyi agambye nti oluvanyuma lw’okubaako bye bakkanya n’abakakiiko ke by’okulonda basazeewo okuddamu okukola entekateeka endala mwe bagenda okuyita okwebuuza ku bantu awatali kutataaganyizibwa.
“Kyatukoze bulungi nti bwe twabadde mu lukiiko Poliisi yakkirizza nti yamenya amateeka mu ngeri emu oba endala, naye ekilungi nti kati tukkanyizza okukolera awamu” Kyagulanyi bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com