ABATUUZE abakozesa oluguudo olugenda ku mwalo gwe Kasensero mu Disitulikiti ye Kyotera ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lwo luguudo lwabwe okwononeka kye bagamba nti kizizza ebyenkulakulana byabwe emabega.
Bano bagamba nti ebbanga lyonna Gavumenti ezze ebasuubiza nga bwegenda okulukolako era nga ne kitongole kya UNRA kimaze ebbanga ddene nga abakikulira balambula saako n’okupima, naye nga tebalaba kigenda mu maaso.
Bategezezza omubaka waabwe mu Palimenti Robinah Ssentongo abadde agenzeeyo okululambula, nti bali mu mbeera mbi asaana asale amagezi abeeko kyakola okulaba nga Gavumenti elubakokera.
Mu kiseetra kino lwonna luserera nga emmotoka ezitwala ebyamaguzi ku mwalo ezisinga zasiranira okwo olw’okwononeka nga ziserera abasuubuzi ne bafiirwa emaali yabwe.
Abatuuze batezezza nti obumotoka obutono tebukyasobola kusaabala bisooto ebingi ebilulimu ate nga ne Boda Boda kati zifuuse za buseere olwe kkubo okuserera okukamala.
Charles Sebuguzi omutuuze we Kagamba agamba nti gye buvuddeko abaana be abaali bagenda okumukyalirako mu nnaku enkulu bawalirizibwa okusula ku kkubo emmotoka mwe baali bwe yaserera nga tebalina buyambi wadde.
Omubaka Robina Ssentongo bwabadde ayanukula abategezezza nga bwagenda okutuukirira ekitongole kya UNRA amangu ddala kiveeyo okutaasa embeera oluguudo luno gye lulimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com