EBY’OBUFUZI mu Disitulikiti ye Kalangala buli olukya byeyongeramu ebbugumu abantu ab’enjawulo bwe batandise okusonga ku bifo mu lwatu bye beegwanyiza era nga bamaliridde okubiwangula.
Tukuletedde musaayi muto Helen Nakimuli 34, agamba nti amaliridde okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Kalangala.
Ekifo kino mu kiseera kino kilimu munna NRM Aida Nabayiga, era nga yakakimalamu ekisanja kimu oba emyaka 5.
Nakimuli gwe twayogeddeko naye mu mboozi eyakafubo agamba bwati;
Nazaalibwa nga 2/07/1985 ku kyalo Lukuba/ Buwanga, ekisangibwa mu muluka gwe Buwanga, mu Gombolola ye Kyamuswa e Kalangala. Kitange ye yali omwami we Ssaza lya Ssabasajja Kabaka ely’eSsese eyawummula Kweba Rev. Father Christopher Walusimbi, Maama wange ye Mukyala Maria Nalwanga Walusimbi nga ono ye yali kkansala akiikirira Kyamuswa ne Bubeke ku Disitulikiti e Kalangala okumala ebisanja 4.
okusoma kwange natandikra mu Bukasa Pulayimale gye nava ne ngenda mu Hormisdallen Boarding primary school elisangibwa e Bweyogerere mu Wakiso, eno gye natuulira eky’omusavu.
Neeyongerayo mu ssomero lya Our Lady of Good Counsel SSS Gayaza gye natandikira siniya esooka okutuuka mu y’okuna, oluvanyuma neeyongerayo mu ssomero lya St. Augustine SS Wakiso gye natuulira ekibiina ky’omukaaga, era eno nakola bulungi kubanga mu kiseera ekyo nze nali nkulira abayizi abawala ( Head Girl)
Wano neeyongerayo mu Ttendekero ekkulu e Makerere gye nakuguka mu ssomo lye mbeera z’abantu, era bwe navaayo ne nsaba omulimu ku Disitulikiti e Kalangala abakulu ne bandabamu obusobozi ne nfuulibwa omusituzi we mbeera z’abantu mu Gombolola ye Bubeke gye banzija ne bantwala mu gombolola ye Bufumira nga mu kiseera ,kino ndi mu gombolola ye Mazinga gye nkakalabiza egya Gavumenti.
Wakati nga nkola emirimu gya Gavumenti nsobodde okuyamba abantu bangi mu Kalangala omuli abavubuka, abakyala n’abakadde okubaako kye beekolera ekivaamu ejjamba ne basobola okuva mu bwavu.
Mu kiseera kino yonna gye nkoledde abantu baayo bakkiriza nti ddala Nakimuli mukozi, kubanga nfubye okulaba nga noonyereza ebintu eby’enjawulo ebisibye abantu baffe ab’eKalangala mu bwavu ne mbikolako, nga mpita mu kubakubiriza ne batondawo ebibiina ebibagatta okusobola okubaako emirimu gye batandikawo okusobola okwekulakulanya.
Ngezezaako okuyamba ba Namwandu ne bamulekwa okusobola okufuna ba namateeka ababayambako mu mbeera gye bayitamu, kubanga mu Kalangala bangi ku bbo balekebwawo nga tebalina mwasirizioluvanyuma lwa basajja baabwe okufa bannakigwanyizi ne batwala ebyabwe, ekyo nga omusituzi we mbeera za bantu ku bizinga nkikozeeko era abasinga bali bulungi kati.
Abakadde nfubye okubayambako okufuna bye beetaaga saako n’abalema bonna mbakolamu omulimu era ebizibu byabwe mbimanyi bulungi kubanga kinkakatako mu offiisi yange okubikolako nga sisosodde muntu yenna.
Eby’emizannyo nabyo mbikutteko era nga nfubye okutumbula ebitone bya bavubuka ku bizinga bye Ssese era nga nalondebwa okukola ku nsonga z’okukungaanya ensimbi ku ttiimu ye Ssaza lye Ssese saako n’obuwagizi bwa ttimu eyo.
Ekimu ku bisinze okuntanula okwesimbawo mu kifo kino, kwe kuba nti abantu baffe mu bizinga balekeddwa nnyo emabega, mu bye nkulakulana ate nga ffe abaana enzaalwa ate abakozeeko ne Gavumenti weetuli, ndi mumalirivu okuvuganya mu kifo kino kubanga eky’okukola mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu nkimanyi bulungi.
Neeyama nti nja kusakira abantu bange abe Kalangalasaako n’okubateseza kubanga obukugu bwonna mbulina” nakimuli bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com