EKIMU ku bintu ebisinga okukendeeza oba okwambusa ebbeyi ya buli kintu ge mafuta naddala aga Petulooli ne Dizero agatambuza ebidduka, era gano bwe geyongera ebbeeyi wabaawo akatuubagiro ka maanyi nnyo eri buli muntu yenna akola emirimu egyenjawulo mu ggwanga Uganda, ssi wano mu Ugamnda mwokka naye ne bweru mu mawanga amalala abantu basiiba kakaaba nga ebbeyi ya mafuta elinye.
Mu Ggwanga Uganda abantu abenjawulo naddala mu biseera bye nnaku enkulu ze tulimu kati batandise okwemulugunya olwe bbeyi ya mafuta ey’eyongera okusinziira mu bitundu amasundiro gaago mwe gali.
Bwotunuulira ekitundu kya Kampala wakti amafuta ga beeyi era ku masundiro omuli Shell, Total, City Oil namalala liita ya Petulooli eri ku 4020/= ate bwofulumako mu kibuga osanga amasunsiro geegamu gatunda 3780/= nga kino kye kisinze okutabula abagakozesa nga bagamba nti buno bwandiba obubbi obwe nkukunala.
Festo Zirimala Kiggundu omutuuze we Seeta Mukono agamba nti emiwendo gino gimwewunyisa nti kubanga gikyuka kyuka nnyo okusinziira ku kitundi gyaba avugidde emmotoka ye, nga ogenda okwesanga nti bwavuga navaako mu Kampala afiirwa ensimbi ezisoba mu 350/=, kyagamba nti kikosa ebyenfuna bye.
“Lwaki emiwendo tegiba ku mutendera gumu wonna kubanga ffe obwo tubulaba nga obubbi, abakulira amasundiro gano balina okukyusaamu ku nkola yadde nga baba baagala amagoba mangi nnyo.” Zirimala bwe yayongeddeko.
Felsita Nakabuye omutuuze we Kyengera mu Wakiso agamba nti ewaabwe naddala essundiro lya Africa lyassa dda amafuta okutuusa ku 3450/= Petulooli kyokka amasundiro amalala gaagana era bwajja mu kibuga Kampala asanga ebbeyi ndala nnyo ne yewunya.
“Kino kitegeeza nti ebbeyi ya mafuta mu nsi yonna elabika yakka, naye wano mu Uganda asanga yeyeterawo ebbeyi ye ku mafuta tusaba be kikwatako baveeyo balambike ebbeyi entuufu gye tulina okugagulirako kubanga tukooye obubbi” Nakabuye bwe yagambye.
Omukugiu mu mafuta era nga ye nanyini Shell Kayunga Ronald Rwijema bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti olumu ekileeta ebbeyi ya mafuta okweyongera mu bitundu ebimu kiva ku ntambula gye yagambye nti nabasuubuzi baago bakozesa sente nnyingi okugatambuza okugatuusa naddala mu byalo abantu gye bagasanga okugakozesa.
“Banange naffe okutambuza amafuta tuagatambuza na sente kale bwe tuba twongeddemu 100/= oba 50/= tubasaba mukigumire” Rwijema bwe yagambye.
Yayongeddeko nti annaku zino amafuta gasse era nti kati ku masundiro agage aga shell gaakulira liita bagitunda 3990/= petulooli ate Dizero bamutunda 3520/= zokka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com