MINISITA we Ggwanga avunanyizibwa ku nsonga ze bweru walyo, mu ngeri yeemu nga ye Ssentebe we kibiina kya NRM mu Disitulikiti ye Sembabule Sam Kahamba Kuteesa, alabudde bannakibiina kya NRM mu Disitulikiti ye Sembabule okwewala eby’obufuzi by’obukyayi byagambye nti tebilina gye bigenda kutwaka kitundu kyabwe mu nkulakulana
Era abasabye abantu okwongeramu amaanyi mu kuwagira ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, nagamba nti bwe banakikola bajja kufuna empereza ey’omulembe kubanga be bali mu kintu.
Kuteesa agamba nti bannaSembule balina okwewaayo okukuuma obuwagizi bwe kibiina nga bubumbujja nti kubanga bwe banaleka abaseketerera Gavumenti ne babasinza anmaanyi bajja kuba beekotogedde bokka saako ne nkulakulana ey’omuyiika okugifuuwa mu ngombe.
Okwogera bino yabadde ku mukolo ogwategekeddwa banna NRM mu Sembabule okusobola okweddabulula saako n’okuzzaawo offiisi zaabwe ezaali zaatekerwa omuliro mu mwaka gwa 2016, bwe baali bafunye obutakkanya obwasibuka mu kulonda okwaliwo mu kiseera ekyo.
“Sagala kuddamu kulaba bantu baffe nga mwawukana olw’ebyokulonda ne by’obufuzi ebitayamba, offiisi eno yammwe mujeyagaliremu, mukolere muno emirimu gye kibbiiina era ngisasudde emyaka 2 milamba” Kuteesa bwe yagambye.
Omukolo guno gwetabiddwako ba Minisita okuli avunanyizibwa ku nsonga za baana na bavubuka Florence Nakiwala Kiyingi, Lt. Gen Muhoozi Kayinerugaba, n’ababaka ba Palimenti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com