EBBUGUMU ly’eyongedde mu kuvuganya ku kifo ky’omubaka akiikirira e Ssaza lye Kyotera mu Buddu, omuvubuka era omusuubuzi Charles Kirumira bwasazeewo okwesowolayo okuvuganya ku kifo ky’omubaka mu Palimenti.
Ekifo kino mu kiseera kino kirimu Minisita w’obwegassi Haruna Kasolo, kyamazeemu ebisanja 2.
Charles Kirumira yayogeddeko ne bannamawulire abamusanze mu kibuga kye Masaka mwaddukanyiza emirimu gye nagamba bwati;
Nazalibwa nga 12.09.1973 ku kyalo Miti ekisangibwa mu Gombolola ye Lwankoni, Kalisizo mu Disitulikiti ye Kyotera mu kiseera ekyo eyali eyitibwa Rakai.
Kitange ye mugenzi Paul Muwuluzi, ate mmange ye Margret Namanda Muwuluzi, era nga mu maka ga kitange nze mwana owe 12 ku 13 bwe batuzaala.
Okusoma kwange nakutandikira mu Lwankoni Primary School era gye natuulira ekibiina ek’omusanvu, nagenda e Lyantonde mu ssomerolya St. Gonzaga gye nakolera Siniya ey’okuna, ate ey’omukaaga ne ngituulira mu ssomero lya St. John’s SS Kabuwoko.
Yunivasite nagisomera mu ssomero lya American Inter-Continental University e London mu Bungereza, ne nkuguka mu by’obusuubuzi ne Tekinologiya.
Bwe namala ekibiina eky’okuna mu mwaka gwa 1995, natandika okukola nga omuwereza mu kirabo kye mmere ekimanyiddwanga High Way Restaurant ekisangibwa ku luguudo oludda e Mbarara mu Nnyendo Masaka era wano nakola emirimu obutebalira okutuusa bwe naddayo mu ssomero okumaliriza ekibiina ky’okutaano ne ky’omukaaga e Lyantonde.
Nga mmaze Siniya ey’omukaaga mu mwaka gwa 2000 nakomawo mu Nnyendo okukola era olw’obukozi bwange abaali batwala ekifo kino basalawo okunkuza ne bantwala okukulira wooteeri ya High Way Motel e Kyotera eno nayo namanyirayo abantu bangi saako ne mikwano abajjanga mu kifo kino entakera.
Oluvanyuma neeyongerayo mu Ggwanga lya South Africa ne ntandika okusuubula amata, ebintu bya baana ebizanyisibwa(Toes) saako nebikozesebwa abaana abasoma(Educational Materials) awo bwe nafunayo ku nsimbi kwe kweyongerayo e Bungereza okukwazza emisomo gyange.
Kirumira ne by’obufuzi
Eby’obufuzi nabitandika nkyali muto ddala kubanga bwe twali tusoma e Lwakoni nali mukulembeze wa Basikawutu mu ssomero lyonna era nga kino kyanyamba nnyo okumanya obukulembeze bwe buba kubanga baana baali bampa nnyo ekitiibwa ate nga nkyali muto nange ne neeyongera okwagala okukulembera bayizi banange bwe twali.
Bwe natuuka mu ssomero lya St Gonzaga eno abayizi bannonda okubakulembera mu kisulo mwe twali (Domitory Captain) okutuusa bwe navaayo.
Nga nzize mu nju ya kitanga n’obukulembeze, neegomba nnyo kitange omugenzi Paul Muwuluzi nga ono yali mwami wa Gombolola ye Kalisizo eyawamu, era mu kiseera ekyo yali etwala Kirumba, Lwankoni, Kalisizo Rural ne Kalisozo Town Council olw’obukozi bwe ne kitiibwa ekyali kimuwebwa abantu kyansikiriza okutambulanga naye buli we yalinga alaga nga asomesa abantu ku bintu eby’enjawulo ebikwatagana ne kitundu.
Bwe yaddanga awaka nga atukuutira okubeera abamazima era abenkanya mu buli kye tukola, kye nakizuula oluvanyuma nti yali akkiririza mu kibiina kye by’obufuzi ekya Democratic Party DP.
Mukulu waffe Herman Mwazi naye yegatta ku by’obufuzi era navuganya ku kifo ky’obwa Ssentebe bwe Gombolola ye Lwankoni nga bakagisala ku Kalisizo, oluvanyuma nafuuka Sipiika wa Disitulikiti ye Rakai mu mwaka gwa 2013.
Mukulu wange omulala ye George Fred Kagimu Meeya we Kibuga kye Mukono, era ono naye yansikiriza nnyo okwegatta ku by’obufuzi olwengeri gyakolamu emirimu gye ate nga mukwata mpola saako n’okuwuliriza abantu bakulembera e Mukono.
Nsisinkana Mathias Mpuuga mu America nansikiriza okwegatta ku by’obukulembeze
Bwe namala okusoma mu Bungereza neeyongerayo mu Ggwanga lya America gye nali nfunye emirimu egy’ekuusa ku kukozesa ebyuma bi kalimagezi, era eno gye nasisinkana owekitiibwa Mathias Mpuuga Nsamba eyali azze ne banne mu kibuga Boston okwetaba mu lukungaana lwa baganda abali mu Amerika olumanyiddwanga Ggwanga mujje, wakati mu kunyumya naye yansikiriza nnyo okudda eka neetabe mu by’obukulembeze nga nkozesa obukugu bwe nali nfunye mu America saako n’okuyambako ku kitundu kye Masaka eyawamu mu bintu ebitali bimu.
Nasalawo okudda eka nga Mpuuga bwe yangamba era mu mwaka gwa 2016 Kyotera bwe yasalwa ku Rakai navuganya ku bwa kkansala akiikirira e Gombolola ye Lwakoni ku Disitulikiti e Kyotera ne mpangula ku kaadi ye kibiina kya DP.
Lwaki nsazeewo kwesimbawo ku Bubaka mu Palimenti
Oluvanyuma lw’okwongera okwetegereza ekitundu kyaffe eky’eKyotera nakizuula nti ebintu bingi bye tufiiriddwa olw’obukulembeze obuliwo kati bwe ndowooza nti tebufuddeyo ku muntu wa bulijjo.
Abantu be waffe balimi nnyo naye abakulembeze abali ku mutendera gwe Ggwanga lyonna tebafuddeyo kubayamba kwongera muwendo ku bye balima saako n’okubanoonyeza obutale ebweru we Ggwanga, kuno kwetaaga okusomesa abantu baffe okufaayo okukozesa ebijimusa ettaka ebyaffe ebyekinnansi kubanga emmere evudde mu bijimusa ebyaffe elina akatale ka maanyi wabweru we Ggwanga ne mu butale obw’omubibuga.
Ensonga ye byenjigiriza mu kitundu kyaffe kikyali kizibu nnyo, nze ndaba nga ojjeeko Gavumenti gye tukabiriira buli kadde nange bwe mba nfuuse omubaka mu kitundu kino nsobolera ddala okulwana ne nfuna ku bagabi b’obuyambi ne batuyambako mu bintu ebitali bimu ne Gavumenti wetusangira nga tulina we tutambuddeko.
Ensonga endala ye y’okuteekawo amassomero ge byemikono mu Kyotera,
Abaana bangi bakoma mu bibiina ebyawansi ne babulwa ensimbi ezibongerayo waggulu okufuna obukugu mu mirimu egy’enjawulo, songa baba basobolera ddala okukwatibwako ne batumbula ebitone bye balina nga basoma emirimu gye mikono.
Kuno tusobola okubagattirako okubafunira ebikozesebwa mu kusoma ebyemikono okuli eby’eyambisibwa mu kuzimba, okubajja ne bilara.
Era mbadde mu busobozi bwange nfubye okuyambako mu bye njigiriza e Kyotera nga nnyambako okutwala abaana mu massomero ge byemikono ne basoma saako n’okubafunira emirimu mu bitongole ebyenjawulo ekibayambye okufuna embavu okuyamba bazadde baabwe saako n’abomumaka abalala.
Ngenda kwesimbirawo ku kaadi ye Kibiina kya Democratic Party, mu mukago gwa People Power, kubanga nze natekebwamu obwesige okukulembera bannakisinde kya People Power mu Masaka eyawamu.
Kirumira mu kiseera kino emirimu gye egy’obusuubuzi agikolera mu Kibuga kye Masaka saako ne gy’obulimi mu Kyotera.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com