EMBEERA ye by’entabula mu Ggwanga eyongedde okutabuka, abagoba be bidduka ebikola ogw’okusabaza abantu bwe bongedde okuwanika ebisale mu nnaku za Sekukkulu.
Mu kiseera kino enguudo zonna ezifuluma n’okuyingira ekibuga Kampala zikwatiridde3 abantu abafuluma okugenda mu byalo saako naabo abatonotono abakiyingira, ekivuddeko abagoba ba zi Takisi ne Baasi okwogeza ebisale.
Taksi eziva mu Kampala okudda e Jinja zibadde zitwalira 10,000 bulijjo kyokka mu nnaku zino zitwalira 20,000, kitegeeza nti bongeddemu 10’000 mulamba.
Engendo enyimpi nga Mukono- Kampala, Kampala- Entebbe, Kampala- Wakiso nazo ebisale by’ongezeddwa eky’ongedde okwewanisa emitima abatambuze.
Mu ppaaka za bbaasi ezimu okuli eya Namayiba , Global Coaches eya Kampala mukadde, Kisenyi Bus Terminal, Arua Park n’endala kati kikwetaagisa okulindako okumala akaseera okufuna bbaasi etikka .
Bannannyini bbaasi bagamba nti abantu abatambula beekubidde oludda lumu oluva e Kampala okudda mu byalo ng’abava mu byalo batono nnyo nga bbaasi bakomyawo nkalu kino ne kibawaliriza okulinnyisa ebisale okufuna ssente z’amafuta.
Jude Tumwine maneja wa bbaasi za Global yagambye nti ssente entonotono ze baayongeddemu zaakaseera katono ng’ebisale bigenda kuddayo nga bwe bibadde ku 20,000/- okuva mu Kampala okudda e Mbarara. Wabula nga kati omuntu ava e Kampala kimwetaagisa 30,000/- okugenda nga kino kitegeeza nti bayongeddemu 10,000/-.
Ye Jackson Wacibra maneja wa GAAGAA yagambye nti, ‘Wadde naffe abali mu mulimu guno kekaseera we tukolera ku kasente, essira tusinga kulissa ku byakwerinda n’obulamu bw’abasaabaze.
“Ekiseera kino tutwala obudde nga tukyetegekera era bbaasi zaffe zikoleddwa bulungi okuzisobozesa okutambula obulungi ssaako ne baddereeva nga bali bulindaala okusobola okutuusa abaasabaze gye bagenda mu mirembe,” Wacibra bwe yagambye.
Ku ky’ebisale aba GAAGAA baayongezzaamu 5,000/- ku buli lugendo. Okuva mu Kampala okudda Lira awabadde ku 20,000/- kati 25,000/- n’ebitundu ebirala gye bakolera.
Mu ppaaka ya Namayiba awali bbaasi ezidda e Mbale , Soroti n’okweyongerayo kw’ossa ebitundu ebirala abantu abatambula baabadde bakyali batono era ng’ebisale tebinnalinnya kuva ku 20,000/-.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com