EBY’OBUFUZI mu Disitulikiti ye Sembabule by’eyongeddemu ebbugumu, oluvanyuma lw’omuvubuka embula kalevu Agnes Kwagala Tumusiime okw’esowolayo avuganye ku kifo ky’omubaka mu Palimenti omukyala.
Ekifo mu kiseera kino kirimu omubaka Hanifer Kawooya Bangirana akimazeemu emyaka 15, era nga kigambibwa nti mu kiseera kino nti ayolekedde okukyabuulira yeesogge olw’okaano olulala mu kitundu kya Mawogola eyamaserengeta.
Kwagala Tumusiime yaani;
Nazalibwa nga 15 omwezi gw’omwenda 1989 ku kyalo Kagango ekisangibwa mu muluka gwe Lwentale mu Gombolola ye Mitima, Mawogola North mu Disitulikiti ye Sembabule.
Kitange ye mugenzi Isaac Tumusiime ne maama ye Kente Pheobe Tumusiime.
Mu maka ga Kitange twazaalibwa abaana 7 era nze omwana ow’okubiri.
Natandika okusoma mu ssomero lya Kawanda Pulayimale era eky’omusanvu ne nkituulira mu ssomero lya Sembabule Church Of Uganda Primary school elisangibwa mu Town Council ye Sembabule.
Siniya esooka nagisomera mu ssomero lya St. Charles Lwanga SS e Lwebitakuli Sembabule, okutuuka mu y’okuna era nga eno nze nali nkulira abayizi mu ssomero okuva mu siniya ey’okubiri, ate ey’omukaaga nagituulira ku ssomero lya Masaka SS e Masaka, eno nayita bulungi kyokka mu kiseera ekyo maama ye yali atulabirira yekka era kyamuberera kizibu okunnyongerayo ku Yunivasite yadde nga nali nkoze bulungi.
Wano yafubanga okulima n’okulunda naye olw’okuba twali baana bangi ate nga yatulabirira yekka, embeera yamukalubirira nasooka eby’okusoma kwange okubimma amazzi.
Oluvanyuma lw’okumala akaseera nga ntudde waka ensimbi ezinyongerayo nga sizirabako, Katonda yaleeta kojja wange Fausitine Ntambala ne muyitiramu ebizibu bye nali mpitamu kubanga okusoma nali nkwagala nnyo naye nga amagezi aganyongerayo sigalaba.
Ono yatuukirira abaami abazira kisa 2 okuli Dr. Charles Kanyesigye eyali akulira ettendekero lya Nsamizi Training Insititute mu Mpigi saako ne Mwami Charles Nkuranga nabategeeza nga bwe yalina omwana eyakola obulungi ekibiina eky’omukaaga naye nga atudde waka.
Bano bansaba ebiwandiiko byange ne mbibatwalira era amangu ddala bampa ekifo mu Ttendekero e Nsamizi ne nsoma essomo ly’okutandikawo emirimu (Enterprenurship) ku ddaala lya Diploma.
Nga ndi e Nsamizi abayizi abava mu maserengeta ge Ggwanga (Western Region) bannonda mbakulembere era emyaka gyonna 2 bantekamu obwesige era ne tukolayo emirimu mingi, egikyajjukirwa ne mu kiseera kino yadde nga twavaayo.
Olw’obukozi bwange n’okufaayo ennyo ku binsomesebwa ebibuuzo byagenda okudda nga nfunye Diploma eye ddaala erisooka (First Class Diploma), era ne mpeebwa omukisa okweyongerayo okusoma Diguli mu bye mbeera z’abantu mu Ttendekero e Makerere naye ne ngimaririza.
E Makerere bwe navaayo nafuna omulimu mu kitongole ekiwandiisa abantu okufuna endaga muntu NIRA, era emirimu nagikolera nnyo mu kitundu kya Lubaga Division mu Kampala.
Wakati nga nkola ne NIRA Kojja wange Rwakeiru Emmanuel yansikiriza okwegatta ku kkampuni ya Convenant Hard Ware LTD etunda ebintu ebikozesebwa ku kuzimba gye nkolera mu kiseera kino mu kitongole ky’okunoonya obutale (Sales Department).
Ebyansikiriza okwegatta ku by’obufuzi
Olw’okuba mu massomero gonna mwe nayita nali mukulembeze nalaba nga waliwo ebbanga ddene wakati wa balonzi be Sembabule nabakulembeze, kubanga abantu abasinga bakaaba olw’okubatwalako ettaka lyabwe nga tewali ayamba yadde okuboogerera, songa mwattu baalonda abakulembeze baabwe era nga babagala nnyo.
Nange nzenyini ebyaffe byatwalibwa byonna abeeyita abagagga ku kyalo kyaffe, naye nga teri atuyambyeko yadde akatono okubizza, kyokka nga maama wange mu bunaku bwe bambi yafuba ekyetaagisa okutuukirira abakulembeze abali mu buyinza ekiseera ekyo naye teri kye baakolawo, ne ntuuka okulowooza nti ekitundu kye waffe kyetaaga abantu abakulidde mu bizibu nga nze era abamanyi ebizibu byabwe.
Njagala nnyo eddoboozi lya bantu be Sembabule naddala abakyala n’abawala liwulirwe mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu, saako n’okubayambako mu bizibu bye basanga omuli abaana abawala okuzaala nga bakyali bato saako n’abakyala okulekerwa obuvunanyizibwa bwa maka nga abasajja babasuddewo.
Singa abantu be Sembabule bampa omukisa okubakulembera ngenda kufaayo okulwanirira ebintu bya bamulekwa ne banamwandu ebyanyagibwa abantu abeeyita abagagga abatagambwako ku Sembabule kubanga amaka mangi gakaaba tebakyalina katu konna byonna byatwalibwa nga tewali ayamba.
Kwagala Tumusiime ayongerako nti bwawebwa omukisa tajja kugumikiriza muze gwa kufumbiza baana bato, ogusinga okuba ogw’omutawana mu Sembabule kyagamba nti kye kimu ku bisinze okuzza ekitundu kyabwe emabega.
Abavubuka agamba nti ku mulundi guno ssi bakulekebwa bbali nga bwe gubadde, era eby’emizannyo agenda kubitekamu amaanyi mangi, okubatandikirawo emirimu bejje mu bwavu ne bilala.
Ekitundu kye Sembabule mu bujjuvu.
Sembabule nga Disitulikiti elimu amagombolola 18 okuli Mateete, Lugusuulu, Kawanda, Mabindo, Mijwala, Ntuusi, Bulongo, Nabitanga, Lwemiyaga, Kyera, Mateete Rural, Sembabule Town Council, Lwebitakuli, Katwe, ne Nakasenyi.
Abatuuze abawangalira mu kitundu kino balimi, balunzi era basuubuzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com