ABATUUZE b’omuSsaza lye Bukoto Central ekisangibwa mu Disitulikiti ye Masaka kyadaaki bandifuna ku ssanyu nga liva mu nkulakulana etandise okweyoleka mu kitundu kyabwe.
Ekitundu kino kirimu amagombola 3 okuli Kabonera, Kyanamukaaka ne Kyesiiga era nga mu kiseera kino kikikiirirwa Omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Sekandi.
Bwotuuka e Bukoto ekisooka okukwaniriza bye bibiina bya Bakyala ebingi ebyatondebwawo mwe beegattira okusobola okwekulakulanya nga bayita mu bulunzi, obulimi, okutereka ensimbi ne bilala.
Mukyala Sauya Nakirijja nga ye Ssentebe wa Bakyala ku kyalo Gayaza Fuwe, ekisangibwa mu muluka gwe Kirimya mu Gombolola ye Kabonera agamba nti ennaku zino batandikidde ddala okufuna essuubi olw’omwana wabwe Richard Sebamala oluvanyuma lw’okwesowolayo nga ayagala okubakiikirira mu kitundu kyabwe.
Nakirijja gwe twayogeddeko naye agamba bwati; Mu mwezi gw’okutaano omwaka guno nali ndi mu maka gange wano, omwana Sebamala gwe nnali mmaze akabanga nga muwulira ku kyalo ekituddiridde ekye Bisanje nti alina ebibiina bya bakyala byayambako najja nantuukirira.
Ekyamazima olw’okuba olugambo lwali lutandise okuyitingana mu bantu nti ayamba ku bibiina bya Bakyala nange saalonzalonza namutegeeza ebituluma nga abakyala mu kitundu kyayagala okukiikirira, era ne mutottolera ebintu bye tuzze tusaba abantu abali mu buyinza mu kiseera kino byetunafuna ate era ne ssuubi ly’okulonda nga lituweddemu olw’okuba betulonda tebatuyamba.
Yasooka naatuwa obukadde bwe nsimbi 2 twongere mu kibiina kyaffe ekya Mujje Tukole Womens Group ekyegattirwamu abakyala abasoba mu 70, era ne tuteesa ensimbi zino tuzitandikemu pulojekiti ye nkoko 200. bwe tweyongera okutambula naye, yatwongera enkoko endala 200 ne kigendererwa eky’okugaziya enyingiza yaffe nga abakyala b’omukyalo era kati zitandise okubiika tufunira ddala sente ezituyimirizaawo n’amaka gaffe kubanga abakyala bambi abali mu kibiina kino abamu kubo bannamwandu abalala baalekebwawo abaami baabwe nga kati obuvunanyizibwa bw’okulabirira amaka be baabusigaza saako n’okuwerera abaana baabwe.
Banange silabanga ku muntu alinga Sebamala kubanga tukolaganyeko n’abakulembeze bangi naye tewali muntu yali awulirizza abantu ba wansi nabaako ne kyabakolera nga omwana ono bwakola kati.
Tulina essuubi lyamaanyi okwongera okutambula naye mu byenkulakulana singa tugendera awo, oba olyawo ne twongerwako ku mutemwa gwe nsimbi kubanga abakyala baffe bazzeemu amaanyi.
Ronald Lwebuga omutuuze we Kirimya agamba nti kituufu basaana bakyuseeko ku bukulembeze e Bukoto kubanga gye buvuddeko abavubuka babadde teri abafaako naddala ku bintu ebibakulakulanya.
Ebyemizannyo
Mu butuufu Sebamala afubye okutumbula ebyemizannyo mu Bukoto ne Masaka okutwaliza awamu kubanga kati kumpi buli muluka gulina ttiimu y’omupiira enzijuvu ne bikozesebwa byonna, era abavubuka batandise okuddamu amaanyi naddala abalina ebitone ebyenjawulo mu kuzannya emizannyo.
Twalina Sebamala Cup eno yavaamu abaana abamanyi omupiira era nga kati ttiimu ze Kampala buli lwe tusamba zijja ne zitunuulira abaana balina ebitone basobole okubagula batwalibwe mu ma ttiimu agamanyi e Kampala ekitaliwo luli.
Ayambye abaana abasoma mu massomero agenjawulo naddala abo abatalina mwasirizi kyokka nga bagezi okuzaama, bano tusaba Katonda singa ayitamu kijja kutuyamba nyo kubanga bwe banamala okusoma bajja kuyamba nnyo ekitundu kyaffe kino Bukoto Central.
Ebibiina bya Boda boda
Abakulembeze be bibiina ebigatta abagoba ba Boda Boda e Bukoto nabo batandise okufuna ku nkulakulana ey’omuyiika kubanga gyebuvuddeko babadde bakola bukozi nga tebalina bibiina bibagatta mu mulimu gwabwe.
Joseph Kambugu Ssentebe wa ba Boda Boda be Kyanamukaaka agamba nti ddala kituufu obukulembeze bulina okukyukamu kubanga abakulu abaliko mu kiseera kino balabika ebintu bye balowooza bilala ku bya bannansi abawansi bye babasuubiramu.
Ffe abagoba ba Boda twagala muntu ajja kutubuulira njiri ya kwekulakulanya nga twegasse wamu, luli twali tetulina bibiina bya bwegassi nga aba Boda bye tewaggulawo mu kitiundu kyaffe ebituyamba okwekulakulanya, naye Sebamala yatuwa ensimbi era kati twamala okubiwandiisa bikola ne akawunti mu ma bbanka tuzirina kati twagala ne Gavumenti etandikire awo okutuwa twekulakulanye mu mulimu gwaffe.
Ekitundu kye Kitanda m gombolola ye Kabonera eno balimi ba mwanyi be basingayo era nga ebimu ku bizibu bye basanga kwe kuba nti tebalina bintu bibasobozesa kukuuma oba okwongera ku mutindo gwe mwanyi mu kitundu kyabwe basobole okufunamu ensimbi eziwerako okusinga bwe kiri kati.
Godfrey Kizito nga mulimi wa mwanyi era nga mwegassi mu kitundu kino agamba nti beetaga okuyambibwako mu bintu eby’enjawulo okuli amatundubaali kwe baanika emwanyi zaabwe obutagendamu ttaka wakati mu kukuuma omutindo gwazo.
Ekyamazima Sebamala tumwagala nnyo era ebibiina bya bakyala abiyambye naye twagala abalimi atulowozeeko kubanga naffe tumwagala.
Ekilala tuwulira nti Yinginiya twagala atuyambeko atufunire ku bigoma bisobole okutindira omugga ogugatta Masaka ku Rakai mu kitundu kyaffe kino kubanga tusanga obuzibu bungi mu kutambuza ebyamaguzi byaffe okubisomosa okubitwala emitala twefunire ku kasente.
Okunoonyereza era kwalaze nti ekitundu kino ekye Bukoto Central eby’obufuzi byayo bigenda bikyuka, nga kati abatuuze tebakyalina kibiina kya byabufuzi kye bafiirako nnyo nga bwe kibadde emabega, kati basinga kwagala bantu Sekinoomu abasobola okubatuusa ku nkulakulana.
Ekitayinza kubuusibwa maaso e Bukoto kwe kuba nti abantu baayo bakkiririza nnyo mu bwakabaka bwa Buganda saako ne Ekelezia Katolika, nga eno abantu abasinga bagamba nti engeri gye waliwo omukwano wakati wa Yinginiya Sebamala ne Katikkiro Charles Peter Mayiga saako n’abepisikoopi okuli eyawummula owe Masaka John Baptist Kaggwa n’omuggya Severus Jjumba kuluno buli kimu kiyinza okukyuka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com