PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni alabudde ku mbeera y’okutondawo ebibuga ebiggya, nagamba nti kigenda kuba kizibu okubiyimirizaawo kubanga ensimbi eziriwo zaategekebwa kukola ku bintu bilala nnyo.
Banange ensimbi eziriwo entono tufuba kuzikozesa kuzimba nguudo, kusasaanya masanyalaze mu byalo, amasomero, amalwaliro ne by’okwerinda, silaba nsonga etondesaawo bibuga bilala kubanga biyinza okutulema okuyimirizaawo ensimbi tetulina” Museveni bwe yategezezza mu bbaluwa gye yawandikidde Minisita wa Gavumenti eze bitundu Tom Butime nga yemulugunya ku bibuga ebisusse okutondebwawo.
Okulabula kwa Pulezidenti we kugidde nga Gavumenti gye buvuddeko yakamala okutondawo obubuga obutono 162 (Town Councils) era nga bwatandika okukola omwaka guno, kati nga kitegeeza nti buweredde ddala 587 okwetoloola eggwanga lyonna.
Gyebuvuddeko era Gavumenti yatondawo munisipaari endala okuli Buikwe, Nebbi, Kotido, Sheema, Apac, Ibanda ne Bugiri, ekilowozebwa nti ensimbi ezinayimirizaawo ebitundu bino byonna ziyinza obutalabika mangu ekigendererwa ne kifa.
Mu kiwandiiko kye kimu era Pulezidenti yaweze omusolo gwamayumba agali mu byalo Gavumenti e’ebitundu gwe zibadde zagunjaawo gyebuvuddeko nagamba nti ebimu ebitundu bya byalo nnyo, nga abalina amayumba tebalina nsimbi zamaanyi ze bajjamu kuva ku bapangisa baabwe, nategeeza nti bamale kulinda ebindu bino bimale kukula okutuuka ku mutendera gwe bibuga olwo balyoke basolooze ensimbi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com