OMUBAKA wa Kyadondo East mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga bwatawagira bantu banyumya kaboozi kifuula nnenge, kyokka nagamba nti kituufu nti awa ekitiibwa eddembe lyabwe ely’obuntu.
Kyagulanyi agamba nti buvunanyizibwa bwe nga omukulembeze okukuuma eddembe lya bantu batakkiriziganya nabo mu mbeera ezenjawulo saako naabo bakkiriziganya nabo nga tasosodde.
Okwogera bino yabadde ayogerako ne kitongole ekimu ekyebyamawulire mu Ggwanga lya South Africa gyali mu kiseera kino, bwe yabadde ayanukula omuwuliriza omu eyamubuuzizza wa wayimiridde ku nsonga ya basiyazi.
“Enkola za baganda baffe abo nnyinza obutakkaanya nazo naye bwe kituuka ku mbeera y’okulwanirira eddembe ly’obuntu sisobola kubalekerera kubanga nabo bantu abalina endowooza zaabwe yadde sikkaanya nabo” Kyagulanyi bwe yagambye.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2014 Kyagulanyi nga akyali muyimbi yavaayo ne ddoboozi ely’omwanguka naategeeza ababaka ba Palimenti mu kiseera ekyo abaali bateesa ku nsonga z’okukkiriza abasiyazi okwetaayiza mu Ggwanga nga ye ne BannaUganda abalala bwe bataali bamativu ne bbago elyali lireteddwa mu Palimenti.
Bwe yabadde ayanukula ku nsonga ye bbula lye mirimu mu Ggwanga lya Uganda Kyagulanyi yaga,bye nti, ekizibu ekisinga obunene kiva ku mbeera ya byanjigiriza mu Ggwanga gye yayogeddeko nga esinga essira okuliteeka ku kusomesa bayizi kukozesebwa sso ssi kutandikawo mirimu.
Yanyonyodde nti era yensonga lwaki abaana naddala ab’obuwala bangi beeyunidde nnyo okugenda emitala wa mayanja okukuba ekyeyo naddala mu mawanga ga Bawarabu olumu ne bafunirayo ne bizibu nga entabwe eva ku kuba nti mu ggwanga Uganda tebasomesa kutandikawo mirimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com