ABAZADDE Disitulikiti ye Sembabule bakubiriziddwa okukomya okufumbiza abaana abato ne kigendererwa eky’okufuna ebintu.
Ssentebe wa bakyala ba NRM mu gombolola ye Lugusuulu Agnes Kwagala Tumusiime yeyakangudde ku ddoboozi, bwe yabadde ku ssomero lya Progressive Primary school elisangibwa e Ntuusi, ku mukolo ogwategekeddwa abalikulira omwabadde okuwummuza abayizi saako n’okusonda ensimbi ezinayambako okumaliriza ebizimbe bye essomero lino.
Tumusiime yagambye nti e Sembabule abazadde basusizza okwagala ebintu ebyamangu mu baana baabwe ab’obuwala, olumu ne batuuka n’okusalawo okubagabira abasajja abakulu ne kigendererwa eky’okubakaka okwetaba mu bufumbo bwe bateyagalidde, nagamba nti kye bandikoze kwe kubayambako okumaliriza emisomo gyabwe, oluvanyuma ne bafumbirwa nga bamaze okukula obulungi.
Yanyonyodde nti kino tekikoma ku kubonyabonya baana bokka wabula kireetawo n’okuzingamya ebyenkulakulana mu kitundu kye Sembabule, kubanga abaana abasomyeko bafuuse batono nga kati emirimu gya Gavumenti gifunibwa bantu balala abatali ba mu kitundu.
“Tulina okwekemba bakyala banange tuwerere abaana baffe abawala basobole okusoma bamaleko, temuggwamu maanyi naffe tusobola okubaako kye tukolera abaana baffe yadde olumu abasajja baffe tebafaayo nnyo” Tumusiime bwe yagambye.
Yategezezza nti abazadde balina okukimanya nti omwana bwakula era naasoma bulungi era afuna omusajja omulungi saako ne bintu ebingi okusinga nga akyali muto.
Wano we yasinzidde era naalangirira nga bwe yesowoddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Sembabule mu Palimenti era naasaba abantu okumuwagira afune ekifo kino.
Ekifo kino mu kiseera kino kirimu Hon Hanifah Kawooya naye nga kigambibwa nti yandikyabuulira gye bujjako n’avuganya e Mawogola South ewa Hon Jimmy Sekabiito.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com