ABAKULEMBEZE mu disitulikiti ye Mukono bavudde mu mbeera ne balumba abagagga abagambibwa okwesenza ku ttaka lya Gavumenti okuli omwalo gwe Katosi, nga bano baatuuka n’okusaanyawo ekkuumiro lye biwuka ebyali ku mulimu gw’okulya ekiddo ky’okunnyanja ekyali kikaabya abavubi amaziga, nga lyali ly’azimbibwa Gavumenti mu kitundu kino.
Mu mwaka gwa 2002 Gavumenti nga eyita mu minisitule ye by’obutonde bweNsi yazimba ekkuumiro lye Biwuka ebirya ekiddo ky’okunnyanja okuliraana omwalo gwe Katosi e Mukono, ne kigendererwa eky’okuziyiza ennyanja obutasanyizibwawo kiddo ekyali kibuutikidde amazzi mu kiseera ekyo.
Wano Kigambibwa nti abakugu mu mbeera ze biwuka okuva mu Gavumenti baazimbawo ebiyumba mwe baalina okwaluriza saako n’okukuumira ebiwuka bino, bisobole okuva nga omwo byolekere ennyanja okusobola okufufuggaza ekiddo ekyali kisimbye amakanda ku mazzi.
Amyuka Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti ye Mukono Haji Haruna Ssemakula saako n’omukubiriza w’olukiiko lwa Disitulikiti Emmanuel Mbonye ku mande baakulembeddemu abakulembeze abalala okugenda okulaba ekigenda mu maaso ku mwalo e Katosi oluvanyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nga bagamba nti abagagga basusse okwesenza ku ttaka lya Gavumenti nga kwotadde n’okusaanyawo ebintu Gavumenti bye yateekamu ensimbi empitririvu okuyamba abantu abakozesa omwalo gwe Katosi.
Haji Ssemakula yategezezza nti bwe baatuuse ku mwalo baakizudde nga ddala kituufu waliwo abantu ab’esenza ku ttaka ly’omwalo Gavumenti ly’evunanyizibwako obuterevu, era ne bagenda mu maaso ne boonona ne kkuumiro lye biwuka nga kwotadde kabuyonjo ey’omulembe eyali yazimbibwa Gavumenti ku bukadde obusoba mu 200 nga kati yafuulibwa kifo mwe bakanikira yingini za maato.
Yanyonyodde nti era baazudde nga waliwo abagagga abagambibwa okugula ettaka lino, nawera nti tebagenda kubakkiriza kulitwala mu mankwetu nti kubanga lilina okugasa abantu bonna ab’eKatosi ne Mukono okutwalira awamu.
“Tetugenda kutunula butunuzi nga abantu ab’olubatu bakakkana ku bintu ebilina okugasa abantu bonna ne babyekomya nga teri abagambyeko, era kati tutaddewo gye tuyise kkooti ya bantu nga eno yegenda okununula byonna ebibbiddwa mu Mukono.
Ye Sipiika Mbonye yagambye nti bagenda kulaba nga balemesa buli eyefunyiridde okutwala ettaka lya Gavumenti, nategeeza nti ekifo abagagga we bagamba nti baagulawo ssi kyabwe wabula kya Gavumenti, nga mukyo Disitulikiti babadde banoonya ekifo ky’okuzimbamu ekitebe kya Town Council kye yagambye nti kyamukisa mulungi bakifunye.
Bbo abagagga abagambibwa okutwala ettaka linoeliweza yiika ennamba okuli omusuubuzi omututumufu mu Katosi Haji Musa Muliika saako ne Daniel Lubanga bwe baatuukiriddwa baagambye nti balina ebiwandiiko saako ne byapa bye ttaka ebilaga nti be ba nannyini abatuufu abe kifo ekyo.
Haji Muliika yaweze nga bwatayinza kuva mu kifo ekyo nagamba nti yagulawo ensimbi mpitirivu nnyo nti era kye yava alemesa n’abekitongole ekikola enguudo ekya UNRA okugaziya enkulungo esangibwa mu kitundu ekyo.
“Abakulembeze ba Disitulikiti bwe baba baagala okutwala ekifo kyange bansasule ensimbi obukadde 800 nveewo mu mirembe kubanga nagulawo mu makubo matuufu” Muliika bwe yagambye.
Olukiiko awatali kwesalamu bayisizza ekiteeso okusiba sengenge ekifo kyonna okusooka, saako n’okulaba nga emisango egyali gyatwalibwa ku poliisi nga bavunaana abagagga bano gigobererwa bulungi.
Bbo abakolera mu kabuyonjo babalagidde okujamuka amangu ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com