OMUSUMBA we Ssaza lye Masaka omuggya Kitaffe mu Katonda Severus Jjumba asabye abakkirisitu mu Disitulikiti ye Sembabule okwongera amaanyi mu kukkiriza kabwe, kyayogeddeko nga engabo egenda okubayamba okuwangula omulabe Sitaani bwaba abalumbye okubanyagako ebyabwe.
Omusumba agamba nti omukatoliki bwabulwa okukkiriza abanga atalina kigendererwa mu Nsi nga aba atwalibwa buli muyaga oguba gumusaze mu maaso, kino ne kiviirako ne njigiriza ya Ekelezia okusebengerera mu bitundu.
Okwogera bino yabadde akyaliddeko abakkirisitu abasangibwa mu Parish ye Sembabule ku mukolo kwe yayitiddwa okuwa abaana 345 amasakalamentu okuli eya Kofirimansiyo.
Yasinzidde wano nagamba nti okukkiriza kintu kikulu nnyo era kiwa omuntu yenna essuubi, era nti omuntu bwaba yekkiririzaamu kimuberera kyangu okuwangula mu bulamu.
Yabakuutidde okwongera okukwasizaako akulira ekigo kye Sembabule saako n’abasomesa mu bitundu gye bawangalira, nagamba nti kino kigenda kubayambako okubunyisa ekigambo kya Katonda mu kitundu kyabwe saako ne Sembabule yonna okutwalira awamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com