MINISITA we kitongole ekilamuzi ne nsonga za Ssemateeka Gen. Kahinda Otafiire asekeredde Omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Sentamu amanyddwa nga Bobi Wine gw’ayogeddeko nga omulungi mu kugunjaawo engombo ezikozesebwa abantu ne zikwatayo, nti naye eky’okukulembera e Ggwanga akyerabire.
Otafiire agamba nti bannaUganda tebayinza kwesiga Bobi Wine kubakulembera nti kubanga talina bumanyirivu mu bya bukulembeze, nti era tanatuuka kumutendera gwa kwesigika kutekebwa ku Kyoto wakati.
Okwogera bino yabadde ku pulogulamu ya Frontline ku ttivi ya NBS ku lw’okuna, nga wano we yasinzidde nagamba nti etuttumu lya Kyagulanyi ssi byabufuzi nga abasing bwe bakilaba wabula nnyimba zazze ayimba saako ne zimu ku ngombo ezikwata bannaUganda omubabiro, nagamba nti waliwo ekiseera kyo kukola eby’obufuzi ebilimu okulowoleza e Ggwanga byatasobolerako ddala.
Yakinoganyizza nti ekibiina kya NRM kikyali kiganzi mu bantu, nagamba nti abakivuganya bagenda kukirabira mu bubokisi bwa bululu nga okulonda okwawamu kutuuse.
Ku kya bantu abenjawulo Pulezidenti bazze alonda okuva mu bitundu nga GHETTO Otafiire yagambye nti eyo yeemu kun kola yaabwe gye baagujaawo gye buvuddeko okulaba nga basitula embeera z’abantu abo nabo basobolre okubaako kye bakola bawone okusekererwa abantu ab’enjawulo olumu ababatwalanga abatali baamugaso eri ensi yaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com