OLUVANYUMA lwa Minisita we nsonga z’ebweru we Ggwanga era nga ye Mubaka we ssaza lye Mawogola mu Lukiiko lwe Ggwanga olukulu Sam Kahamba Kuteesa okulangirira nga bwatagenda kudda kuvuganya kukiikirira kitundu kino mu Palimenti, abantu ab’enjawulo batandise okuvaayo nga beegwanyiza okutwala ekifo kino.
Omu ku bavuddeyo ye munnabyabusuubuzi Salim Kisekka 41, omutuuze ku kyalo Kawanga ekisangibwa mu Ggombolola ye Mabindo e Sembabule.
Ono era ye kkansala akiikirira e Ggombolola ye Mabindo ku lukiiko lwa Disitulikiti ye Sembabule.
Kisekka agamba nti yakula ne Jjajjawe ku kyalo Kagango ekisangibwa mu Ggombolola ye Lugusuulu e Sembabule, era nga bazadde be bamufaako nga akyali muto teyabalabako.
“Nzize ntoba n’obulamu okuva mu buto bwange era obulamu tebubadde bwangu, obutafananako nabaana banange abalala ku kyalo abaalina bazadde baabwe abasobola okubawerera ku masomero, nze nasalawo okulundanga ente z’abantu ku kyalo ne nsobola okufuna sente ze ssomero, era Pulayimale yange nagisomera ku ssomero lya Lutunku eky’omusanvu ne nkituulira ku ssomero lya Kyaali Pulayimale e Gomba
Nga ndi mu luwummula olw’ekyomusanvu Mwanyinaze Rehema Nakimbugwe yankima mu kyalo nandeeta e Kampala mu mwaka gwa 1995 ne tutandika okubeera ku kyalo Bukasa, gye navanga nga ngenda mu paaka enkadde okukola obulimu obutonotono okusobola okufuna ekigulira magala eddiba mu kiseera ekyo.
Eno gye nasanga munnamawulire Lawrence Kyagera Musisi eyandabanga nga nnyamba ku bantu mu paaka nambuuza oba nkyayagala okusoma, bwe namulaga obwetaavu bwange mu kusoma nantwala era nanyanjulira aba Sisita be Gogonya ne bangatta ku baana bamulekwa be baali balabirira e Kigando mu Disitulikiti ye Kiboga gye nasomera okutuuka mu siniya ey’okuna.
Eno gye nalondebwa okubeera omukulembeze wa bayizi era olumu omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni yali akyaddeko ku ssomero lino, gye yansanga ne bamunnyanjulira nga akulembera bayizi banange wano nansiima era nantwala neyongereyo okusoma.
Yankwasa eyali RDC we Kiboga ebiseera ebyo mukyala Margret Balyewuki eyantwala nangatta ku baana Pulezidenti be yali awerera mu massomero ag’enjawulo era obuyambi bwonna okuva ew’omukulembeze we Ggwanga bwayitanga mu RDC Balyewuki.
Bwe namala okusoma nzize nkola emirimu mingi naye nga egisinga gyabusuubuzi, omuli okusuubula emmotoka mu Kampala, amafuta, Emmwanyi, Kasooli ne bilala.
Olw’okuba nayambibwako nnyo mu kusoma kwange ate nga abaana mu kitundu gye banzaala okusoma ssi kwangu, nasalawo okutandikawo amassomero okuli Bajja comprehensive secondary school elisangibwa mu Disitulikiti ye Kalungu saako ne Kyabi standard Primary school elisangibwa e Sembabule.
Mu kiseera kino mpeerera abaana ebisale bye ssomero abawerera ddala 1386 ku mutendera gwa Pulayimale ne siniya nga kwotadde nabalala 28 abali mu matendekero agawaggulu abaafiirwako bazadde baabwe n’abalala ababazadde abatesobola mu kitundu'” Kisekka bwe yagambye.
Ono abadde muyambi wa Minisita Sam Kuteesa ow’okulusegere, era nga amukoledde emyaka egisoba mu 15, kyagamba nti kati amaze okufuna obumanyirivu okusobola okukiikirira abantu be Mawogola mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Agamba nti agenda kwesimbawo ku kkaadi ya NRM, era nga omulimu gwaliko kati kwe kulaba nga azzaamu bannakibiina amaanyi ababadde basebengeredde mu kuwagira e kibiina e Mawogola.
Agenda kuvuganya ne muwala wa Minisita Kuteesa amanyiddwanga Satshi Musherure Kuteesa, Yahaya Sengabi nabalala.
2011 nsisinkana kuteesa nanteeka ku Group ye era omukoledde emyaka 15 nga omuyambi we.
Mperedde abaana abasukka 1386 mu massomero agenjawulo.
Ekimu u kinzijeyo okwesimbawo kwe kulaba nga abantu ewaffe bakyaye nnyo NRM
Njagala okuwerera abaana abenjawulo
University 28.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com