OMUBAKA wa Gavumenti mu Disitulikiti ye Jjinja Eric Ssakwa alagidde abakuuma ddembe okwetoloola ekibuga kye Jinja okukuba amasasi ku nnyama bwe basanga abaana b’okunguudo abatayaaya ne bissi kyagambye nti kati bafuuse ba bulabe eri abatuuze.
Ssakwa okutaama bwati kiddiridde omu baana b’okunguudo okufumita omuselikale wa Poliisi ekiso n’amutta mu kiro ekikeesezza olw’okuna.
Coporal Geoge Tanga yeyattiddwa nga kigambibwa nti ku ssawa nga 8:00 ogw’ekiro yabadde aliko waali kwe kuwulira enduulu ku kyalo Kazimingi ekisangibwa ku nkingizzi ze kibuga Jinja bwatyo nagendayo alabe ogubadde.
Bwe yatuuseyo yasanze abaana bano baliko emitayimba gye bakukusa okuva mu dduuka elimu era naakwatako omu, wabula bwe yabadde amuwalawala okumutwala ku Poliisi enkulu e Jinja wakati mu kkubo omwana ono yabadde ne kiso kye yamusozze mu nsingo nalajana.
Oluvanyuma abatuuze bazze okumudduukirira ne basanga nga agudde wansi era bagenze okumuyoolayoola okumutuusa mu ddwaliro nga afudde.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire Eric Ssakwa omubaka RDC we Jinja agambye nti tebagenda kugaya baana bano kubanga kati bafuuse ba bulabe eri abatuuze era nalagira abakuuma ddembe okukola ebikwekweto okwetoloola ekibuga kyonna, nga omwana yenna anasangibwa ne kissi ate nagaana okukwatibwa mu mirembe bamukube amasasi, kubanga bayinza okubagaya ne bakola mu ngeri yeemu gye bakoze omupoliisi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com