ABAKULEMBEZE b’ekibiina kya NRM bavuddeyo ne bakunga abawagizi baabwe okugenda okukebera enkalala z’abalonzi, kye bagambye nti kye kimu ku bijja okubayamba okuwangula ebifo ebiwerako mu kulonda kwa 2021.
Basinzidde ku kitebe kyabwe ekisangibwa e Kyadondo mu Kampala, ne bategeeza nti singa abawagizi baabwe beesulirayo ogwa naggamba ne bawa ekyagaanya ab’oludda oluvuganya bokka ne bayinza okwesanga nga bawanguddwa.
Omuwanika we kibiina kya NRM Rose Namayanja Nsereko bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku lw’okusatu agambye nti enkola y’okukebera enkalala z’abalonzi Gavumenti gye yatadde wansi ku byalo egenda kuyamba nnyo abantu okumanya oba bakyali balonzi oba bajjibwa dda ku nkalala, nga bannaNRM bwe batagendayo kiba kitegeeza nti obudde bw’okulonda bwe butuuka bajja kuba tebasobola kwetaba mu kusalirawo Ggwanga lyabwe.
“Tukunga abantu baffe naddala bannakibiina kyaffe ekiri mu buyinza bwe Ggwanga lino okugenda mu bifo awali abakebera enkalala z’abalonzi beekebere balabe oba mwe bali mu nkalala, Era tubakowoola okutegeeza ne kubanaabwe bagendeyo baleme okutusubya akalulu kaffe ak’obuwanguzi” namayanja bwe yagambye.
Kinajjukirwa nti mu kulonda kwa 2016 abalonzi mu Ggwanga baali obukadde15 nga kati okulonda kwa 2021 we kunatuukira ab’akakiiko ke byokulonda basuubira abalonzi okweyongerako okutuuka ku bukadde 22.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com