OMUBAKA wa Gavumenti mu Disitulikiti ye Buvuma Juma Kigongo aweze okukangavvula abakozi ba Gavumenti ku kitebe kya Disitulikiti saako ne mu magombolola abagufudde omuze okwebulankanya ku mirimu nagamba nti tagenda kulonza lonza agenda kukolagana n’akulira abakozi bayimirizibwe bunnambiro.
“Nkizudde nga kisusse abakozi naddala abali mu ma gombolola agali mu bizinga nga tebafaayo kubeera ku mirimu, olwo abantu abaagala obuwereza ne beesanga nga tebabufunye, Era tikizudde nga abakozi baffe mu wiiki bagenda ku mirimu ennaku bbiri zokka, abalala tebalinnyirayo ddala olumu ekireseewo enkola ye mirimu okukolebwa gadibe ngalye” Kigongo bwe yagambye mu mboozi eyakafubo ne Watchdog.
Yagambye nti abantu bangi bazze batuukirira office ye nga beemulugunya ku bakozi ba Gavumenti naddala abakolera mu bizinga kyagamba nti kino kileetawo ekifananyi ekibi eri Gavumenti nawera nti tagenda kukikkiriza.
Yayongeddeko nti agenda kukwatagana n’akulira abakozi batunule mu nsonga eno kubanga kirabika kisusse, abakozi tebakyakola basiiba mu bubuga okuli Mukono ne Jinja.
“Tusobolera ddala okubaako kye tukola kubanga CAO alina obuyinza okuyimiriza buli mukozi wa Gavumenti aba takola era nalagira abalala abakola obulungi bagira batuula mu bifo ebyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com