MINISITA we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine awadde abakulira ekisinde kya People Power amagezi okwewala okutisatiisa saako n’okuvuma abalina obuyinza nagamba nti balina knufuba babakoleko omukwano olwo nabo balyoke babaleke batwala eggwanga mu maaso.
“Abavubuka abaagala okutwala obukulembeze mbawa ga buwa, mulina okukolagana n’abakadde ffe abalina obuyinza bwe Ggwaga lino olwo naffe tulyoke tubakubemu toocci oba musanidde okulekera e Ggwanga.
Bwe mugenda mu maaso n’okutuvuma saako okutisatiisa kwe mukola tetugenda kubaleka kugenda mu bukulembeze kubanga mujja kuteeka e Ggwanga mu katyabaga ate abatuuze banenye ffe ababubawadde” Tumwine bwagamba.
Ayongerako nti abakadde abavubuka be banyooma balina amagezi manji nnyo kubanga bayise mu bintu bingi, obumanyirivu mu by’obukulembeze saako ne sente nga tekiba kyangu kubajjako buyinza okujjako nga okolaganye nabo mu bulungi.
Agamba nti akimanyi nti bajja kuvaawo e Ggwanga likulemberwe omugigi omulala, naye tebagenda kuvaawo na bivumo n’okutisatiisa okuva mu bavubuka, kyagamba nti balina okujja babeebuuzeeko butya bwe basobodde okutambuza e Ggwanga emyaka 30 n’omusobyo ate babeeko bye babayigirako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com