POLIISI n’okutuusa kati ekyatankana ekivvulu ekyatuumibwa “Osobola” ekitegekebwa omuyimbi Bobi Wine era nga ye mubaka wa Kyadondo East mu Palimenti oba kinabeerayo oba nedda.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga bwabadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku mande agambye nti bakyetegereza mbeera, era okusinziira ku akulira ebikwekweto bya Poliisi mu Ggwanga AIGP Asuman Mugyenyi tanabategeeza oba amaze okukakasa ebifo mwe kigenda okubeera oba bituukiridde bulungi.
Bobi Wine yali yategeka bivvulu2 era nga ekisooka kigenda kubeera ku kifo kye ekya One Love Beach e Busabala ku lunaku lwa mefuga, ate olweggulo abeere e Masaka.
Wabula bino kati bikyali mu lusuubo kuba olukusa olsembayo alina kulujja ku Poliisi, naye nga n’okutuuka kati tennaba kumuddamu yadde nga yeteekayo okusaba kwe gye buvuddeko.
Yadde nga tekinakakasibwa nti ebivvulu bya Bobi Wine tebigenda kukkirizibwa, naye guno ssi gwe mulundi ogusoose Poliisi okulinnya eggere mu bivvulu bye, ne ku Kyarenga byali bwe bityo okukkakkana nga biwereddwa era emisango gili mu kkooti nga abaali abategesi bawawabira Gavumenti okubafiiriza ensimbi empitirivu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com