KABAKA wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II atuuse mu Ssaza lye Busiro okusobola okwetaba mu kukuza olunaku lwa mefuga ga Buganda agagenda okubaawo oluna lwe nkya nga 08.10.2019 .
Emikolo egy’okuntikko gigenda kubeeera ku kitebe kye Ssaza e Ssentema, era nga eno Obuganda bwonna gye bugenda okukunganira okusobola okutambuza emikolo gyonna.
Kabaka agenda kutandika n’okuggalawo olusiisira lwe by’obulamu oluyindira ku kitebe kye Ssaza, saako neezo eziri mu byalo ebyesudde ekitebe nga zino zimaze sabiiti nnamba nga ziyinda, era abantu ba Kabaka bangi bajjanjabiddwa endwadde nnyingi ku bwerere.
Agenda leero era okukyalirako ku balimi mu Ssaza lino, naddala nga anyikiza enkola gye yagunjaawo emanyiddwanga emmwanyi terimba, mwayita okwongera okwagazisa abantu ba Buganda okulima emmwanyi.
Akakuba akakedde okutonnya okwetoloola Essaza lyonna tekamulobedde kutambula, era waatukidde ayaniriziddwa eyali omukulembeze we Diini yabadiventi Dr John Kakembo.
Buganda yeyasooka okufuna obwetwaze okuva ku Bazungu era nga yo yetwala nga ennaku 8.10.1962 ate Uganda eyawamu ne yefuga nga 09.10.1963
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com