KKOOTI Enkulu mu Kampala kyadaaki emase n’esala omusango gwe ttaka lye Lusanja mu Wakiso.
Kati omusuubuzi Medard Kiconco ye nannyini omutuufu owe ttaka lino elibaddeko enkayana ez’amaannyi okuva mu gwe kkumi omwaka oguwedde, era omulamuzi agambye nti abatuuze abaliriko balina okulyamuka obutasukka nnaku 30 okuva olwaleero.
Ettaka lino lisangibwa ku bulooka 206, Poloti 271 Ssaza Kyadondo, era nga kwali kwasengako abantu ne bazimbako n’amayumba ag’obuwangaazi, kyokka ne gamenyebwa oluvanyuma lw’omusuubuzi Medard Kiconco okugenda mu kkooti n’afuna olukusa olubagoba ku ttaka lye.
Kiconco olwamala okufuna ekiwandiiko kya kkooti n’atuukirira Poliisi ye Kasangati okusobola okumuyamba okuteeka ekiragiro ky’okusengula abantu mu nkola, era amayumba gonna agali ku ttaka lino ne gamenyebwa.
Kino kyawaliriza abantu bangi nga kwotadde n’omukulembeze we Ggwanga okugendako e Lusanja okulaba ogubadde, era abatuuze ensonga ne bazikwasa Kkooti enkulu eyasooka okusalawo nti baasengulwa mu bukyamu.
Kino kyawaliriza Kiconco okugenda mu kkooti yeemu nga asaba emukkirize alage obwanannyini bwe ttaka lino nga agamba nti lilye era alilinako ne biwandiiko.
Wabula olwaleero Omulamuzi Tadeo Asiimwe bwabadde awa ensala ye mu musango guno agambye nti Kiconco kituufu ye nanyini ttaka lino kubanga ye yaligula ku eyali nannyini lyo Paul Bitarabeho mu mwaka gwa 2013. Era yafuna obwananyini bwalyo mu mwaka gwa 2016.
Omulamuzi era agambye nti abantu 127 ababadde bakayanira obwanannyini ku ttaka lino beesenzaako bwesenza kuba tebalirinaako yadde akakwate, nagamba nti bano balekerera okugula ku nannyini omutuufu Paul Bitarabeho, ne basalawo okukolagana ne Crispa Bitarabeho ataalina buyinza bwonna ku ttaka lino, era nga kati baliriko nga abesenzaako mu bumenyi bwa mateeka.
“Kiconco asobolera ddala n’okubavunaana kubanga omusango gw’okwesenza ku ttaka ly’omuntu nga temumaze kumusaba lukusa gwa nnaggomola era bwaguwaaba guyimirira” Omualamuzi bwagambye.
Bino olugudde mu matu g’abatuuze be lusanja ne benyamira era abamu ne bazirika, era ne batwalibwa mu malwaliro nga bataawa.
Abamu bategezezza nti bagenda kwogera ne ba Puliida babwe abakulemberwa Erias Lukwago balabe ekiddako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com