MUNNAKATEMBA Charles Kasozi amanyiddwanga Mariachi saako n’omuyimbi Maureen Nantume ensi yabaddugalidde bwe baabadde baakatuuka mu Ggwanga lya America ne balagirwa okudda mu Uganda oluvanyuma lw’okubuuzibwa ebiwandiiko ebibakkiriza okukolera emirimu mu America nga tebabirina.
Bano okutuuka ku kino baabadde bayitiddwa omuyimbi Sarah Zawedde nga kati abeera mu America eyabadde ategese ekivvulu mu kibuga Boston ku Sunde nga 29.
Kigambibwa nti bano baabadde balina okweyanjula nga abagenyi abagenda okukyalira ab,enganda zaabwe mu America saako n’okwetaba ku kamu ku bubaga bwa mazaalibwa, nga bwe bogera bwe batyo teri yabadde ayinza kubabuuza biwandiiko bibakkiriza kukola kyokka tebaasobodde kumatiza bakulu ku kisaawe kya Logan Airport abakola ku bantu abayingira n’abafuluma bonna ne babalagira okudda eka.
Bawereddwa obutetantala kudda mu Ggwanga lya America okumala emyaka 10 olw’okubulwa ebiwandiiko ebibawa olukusa okubaako ne kye bakolera mu America.
Kyategerekese nti omuyimbi Sarah Zawedde yeyabadde ategese ekivvulu kino nga akozesezza Charles Bukenya amanyiddwanga Muvawala okunoonya abanasanyusa abantu, kyokka Mariachi ne Nantume bwe baaganiddwa nasalawo okunoonya Desire Luzinda ne Eddy Kenzo bayimbire abantu.
Amateeka mu Ggwanga lya America makakkali nnyo ku bantu abagendayo okukola emirimu, era abakola ku byokuyingiza abantu n’okufuluma batunula ne riiso jjogi okulaba nga buli mugwiira alina ebiwandiiko ebimukkiriza okukolerayo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com