ABAWAGIZI be kibiina kya NRM mu Disitulikiti ye Hoima ne Kabong baasuze mu kwejaga oluvanyuma lwa bantu baabwe abaabadde beesimbyewo okuwangula okulonda okwabadde okwa kassameeme.
Harriet Businge Mugenyi owa NRM ekibiina ekikulembera e Ggwanga lya Uganda yeyawangudde ekifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Hoima era nalangirirwa akakiiko ke by’okulonda.
Okusinziira ku byalangiriddwa akulira eby’okulonda e Hoima Douglas Matsiko ku makya g’olwokutaano byalaze nga Businge owa NRM yafunye obululu 33.301 ate gwe yabadde naye ku mbiranyi owa FDC era nga yeyabadde awagirwa ne kisinde kya People Power Asinansi Nyakato yafunye obululu 28,789.
Ate yo mu Disitulikiti ye Kaabong Christine Tubo Nakwang owa NRM yeyalangiriddwa oluvanyuma lw’okufuna obululu 22,532 nga ono yeyawangudde Judith Nalibe Adyaka owa FDC eyafunye obululu 1,692 bokka.
Akulira eby’okulonda mu Disitulikiti ye Kaabong Julius Ongom yagambye nti obululu bwonna obwakubiddwa bwabadde 24,224.
Kinajjukirwa nti Judith Nalibe owa FDC yawandiikira akakiiko ke by’okulonda nga agamba nti yali eby’okwesimbawo abijjeemu enta kyokka abakungu mu FDC kino ne bakigaana era ne bagenda mu maaso nga banoonya akalulu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com