EBYA Ssentebe wa kakiiko akanonyereza ku ntambuza ye mirimu mu bitongole bya Gavumenti COSASE, era nga ye mubaka wa Kawempe North mu Palimenti Mubarack Munyagwa, byongedde okwononeka Kkooti bwe yisizza ekiragiro alabikeko mu maaso g’omulamuzi ku bigambibwa nti aliko enguzi gye yalya bwe yali akyali Meeya we Kawempe.
Kkooti ewozesa emisango gy’obulyake etaddewo olunaku lwa nga 4 omwezi gwe 11 omwaka guno, Munyagwa alabikeko eri abalamuzi Pamella Lamunu ku bigambibwa nti aliko omusuubuzi mu Kampala gwe yasaba enguzi ya bukadde 100 asobole okuwa omwana we omulimu mu Gavumenti.
Gye buvuddeko omusuubuzi Francis Kasumba yatwala munyagwa mu kkooti nga ayagala amuddize ensimbi ze yamulyako, kyokka nalemererwa okumuwa omulimu mu Gavumenti nga bwe baali bakkanyizza.
Munyagwa yali yasaba omulamuzi Lamunu agaane okuwuliriza omusango Kakumba gwe yamuwabira nga agamba nti omuwaabi wa Gavumenti teyalina lukusa kutwala musango guno mu maaso nga agamba nti omuwaabi yali agujjeemu etta.
Wabula omulamuzi bino byonna yabitadde ku bbali naayita Munyagwa alabikeko mu kooti nga 4.
Oludda oluwaabi lugamba nti mu December wa 2014 Mubarak Munyagwa nga akyali Meeya we Kawempe yatuukirira omusuubuzi Francis Kakumba naamumatiza aweeyo ensimbi obukadde 100, nga amugambye nti agenda kukozesa amaanyi ge yalina mu kitongole kya KCCA afunire mutabaniwe Isaac Muyanja ekifo ku kakiiko ke ttaka ak’ekibuga kye Kampala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com