ZAAKUDDA okunywa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nga ye Ssentebe we Kibiina kya NRM, Saako n’akulira ekisinde kua People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu nga basisinkanye wakati mu kuwenja akalulu ko kuddamu okulonda omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Hoima.
kItegerekese nti Museveni ku lunaku lw’okuna nga 26 agenda kubeera mu Gombolola ye Kirogobya saako ne Kitoba, nga anonyeza Harriet Businge Mugenyi ono nga yaakutte ebendera ya NRM mu kulonda kuno, ate nga ne Kyagulanyi ku lunaku lwe lumu asuubirwa okubaayo nga anoonyeza Asinansi Nyakato eyatekebwawo aab’oludda oluvuganya Gavumenti mu kulonda kuno.
Okusinziira ku RDC we Hoima Samuel Kisembo Araali yagambye nti Pulezidenti Museveni agenda kukyalirako abantu ba Disitulikiti ye Hoima era nga agenda kwogerako gye bali mu bitundu 2.
Yagambye nti abantu bangi beesunze okulaba ku mukulembeze era nti mwetegefu okunonyeza eyesimbyewo ku kaadi ya NRM akalulu okusobolaokuwangula eky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Hoima.
Okusinziira ku mukutu gwa Kyagulanyi ogumanyiddwanga “TEAM BOBI WINE” ne Kyagulanyi alaze nti agenda kubeera mu disitulikiti ye Hoima ku lunaku lwe lumu era nga agenda kwetaba mu zimu ku nkungaana za yeesimbyewo ku ludda oluvuganya Gavumenti Asinansi Nyakato.
Ekifo kino kyalekebwawo eyali omubaka omukyala owe Hoima Tophace Kahwa Byagira owa NRM eyasalawo kudda mu Disitulikiti ye Kikuube eyasalwa ku ye Hoima mu Gw’omusanvu omwaka guno.
Pulezidenti Museveni ne Hon. Kyagulanyi baasemba kusisinkana mu kulonda okwali mu kitundu kya Munisipaari ya Arua, era nga eno waaaliyo n’okuyiwa omusaayi, abagambibwa okuba abawagizi ba People Power bwe baakuba emmotoka ya Pulezidenti amayinja era nga abantu bangi baakwatibwa nga n’omugoba we mmotoka ya Kyagulanyi Muhammad Kawuma yattibwa nga yakubwa amasasi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com