OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga anyonyodde abantu ababadde bazze okumujagulizaako, saako n’okwebaza Katonda oluvanyuma lw’okuwona obulwadde, nagamba nti essaala yokka gye yali asaba nga ali ku kitanda mu ddwaliro yali yakumwegayirira aleme kumutwala mangu kubanga naye amuwerezza ku Nsi.
Kadaga agambye nti ekyamazima buli lunaku asaba Katonda we amutaase olumbe ne bizibu ebilala byonna, era nagenda ku kkanisa ya All Saints buli lwa sande, naye yagenda okulaba nga ayolekedde okudda ew’omutonzi kye yava amulajanira amutaase.
Okwogera bino abadde mu kusaba okwategekeddwa Palimenti okumusobozesa okwebaza Katonda okumuwonya obulwadde ku lw’okusatu, okubadde mu kibangirizi kya Palimenti saaako n’ababaka okwesabira nga bagenda okukyaza babaka banaabwe abali mu kabondo ke Nsi ezaali amatwale ga Bungereza okutandika wiiki ejja.
Anyonyodde abantu saako n’abakulembeze bamadiini nti yafunanga amasimu mangi okuva mu balyoyi b’emyoyo abawerako, nga bamusabira asuuke , kyagambye nti kyamuzaamu amaanyi era nakakasa nti ddala kituufu abantu Basiima emirimu emirungi gyakolera eggwanga lino.
Bino byonna okubaawo yali yakamala okudda okuva mu Ggwanga lya America ne Morocco, era nga abasawo baagamba nti yali afunye obulwadde obuva mu kukola ennyo nga tawummulako.
Ssabalabirizi wa Uganda Rt. Rev. Stanley Ntagali bwabadde akulembeddemu okusaba agambye nti, buli kiseera bawanjagiranga Katonda ataase Sipiika era ekirungi Katonda naddamu essaala zaabwe naamuwonya era naakomawo nga mulamu.
Kilaaka wa Palimenti Jane Kibirige anyonyodde abeetabye mu kusaba nti, we baberera nga Sipiika taliiwo baafuna ekizibu ekyamaanyi era nga buli mukozi wa Palimenti bwomutuukako abeera muyongobevu saako n’okusabanga buli kadde Katonda amusuuse akomewo ku mulimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com