EKITONGOLE ekinonyereza ku bulyake okuva mu maka g’obwaPulezidenti ekikulemberwa Col. Edith Nakalema saako ne Poliisi batandise okunonyereza ku ku mbeera abavubuka 3 abaali baagenda okukuba ekyeyo mu Ggwanga lya Kuwait gye baafuddemu.
Kigambibwa nti abavubuka okuli Mujjuzi John Torres, Charles Bekalaze ne Kiwanuka Moses baakukusibwa ne batwalibwa mu ggwanga lya Kuwait mu mwezi gw’okutaano omwaka guno, era ne bafa nga baakamalayo omwezi gumu gwokka.
Emirambo gya 2 gikomezeddwawo ku butaka emisana gya leero, ate ogwa Kiwanuka gukomezebwawo nkya wakati mu kwemulugunya okuva mu benganda zaabwe wamu ne mikwano, kubanga ekyabasse mpaawo akimanyi.
Ab’enganda za bagenzi bagamba nti amangu ddala nga bawulidde amawulire g’okufa kwa Bekalaze ne Mujjuzi baagezaako okutuukirira ekitongole kya Spotlight Recruitment Inte rnational,nga kino kye baayitamu okugenda mu Ggwanga lya Kuwait, nti kyokka tewali abalulu kye baakolawo okujjako okubabuzabuza okutuusa bwe baatukiridde akulira ekitongole ekilwanyisa obulyi bwe nguzi mu maka g’obwaPulezidenti wiiki ewedde be babayambye.
Col. Nakalema yasitukiddemu era naakwata abakulira ekitongole kino, era ne baggulwako emisango egy’ekuusa ku kukukusa abantu mu bumenyi bwa mateeka, era ne batongoza ne kawefube w’okunonyereza ekyaviiriddeko abavubuka bano okufa.
Gye buvuddeko ekitongole ekikulirwa Col. Nakalema kyatongoza kawefube w’okunoonyereza ku ma kkampuni agatwala abantu ebweru, kubanga baali bakizudde nti agamu tegaalina bisanyizo bibakkiriza kukola mirimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com