AKULIRA ekisinde kya People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alonze abantu abagenda okukulira omulimu gw’okukunga saako n’okukola emirimu gyonna egy’ekisinde mu Disitulikiti ye Mukono.
Abalondeddwa kuliko meeya we Kibuga kye Mukono George Fred Kagimu ono nga yagenda okubeera Ssentebe w’olukiiko, nga agenda kumyukibwa Rev. Peter Bakaluba Mukasa era nga yagenda okukwasaganya ebyamawulire, Fred Kayondo yagenda okuvunanyizibwa ku maserengeta ga Mukono, Joseph Wamala ye agenda okukulira okukunga abantu mu munisipaari ya Mukono nabalala.
Bwabadde yakama okukwasibwa obuvunanyizibwa buno Meeya we Kibuga kye Mukono George Fred Kagimu agambye nti olukiiko olulondeddwa lugenda kutwala obuvunanyizibwa bwokukola emirimu gye kisinde kya People Power wonna okwetoloola Disitulikiti ye Mukono, nga kwotadde n’okwekeneenya abo bonna abagenda okuvuganyiza ku kaadi ye kisinde.
Agambye nti bagenda kukola ekisoboka okulaba nga bakkanyisa abantu baabwe bonna abagenda okuvuganya ku buli mutendera nga basukka ku omu, kyagambye nti kino bakilabye nga ekkubo lye bagenda okuyitamu okuwangula ebifo ebiwerako.
“Ffe aba Democratic Party tetugenda kuva mu kibiina nga bwe babadde boogera, tugenda kuvuganyiza mu bibiina byaffe kubanga Dp elina omukago ne People Power nga kitegeeza nti buli anakwata kaadi ya Dp ajja kuba buterevu alina afuna obuwagizi okuva mu kisinde” Kagimu bwe yagambye.
Yanyonyodde nti tebagenda kutwala mirimu gya bannaabwe abasooka okulondebwa, kubanga baalondebwa ku mutendera gwa Region nga bbo bagenda kukola wansi ku Disitulikiti ku magombolola, emiruka ne ku byalo okulaba nga bawangula ku buli mutendera.
Kagimu agenda okuvuganya ku kifo kyomubaka akiikirira ekibuga kye Mukono ekifo ekilimu Omubaka Betty Nambooze, Bakaluba agenda kuvuganya ku kifo ky’obwaSsentebe bwa Disitulikiti ye Mukono ekilimu Andrew Ssenyonga, Fred Kayondo agenda kuvuganya ku kifo ky’omubaka akikirira amaserengeta ga Mukono ekirimu omubaka Johnson Muyanja Ssenyonga, Joseph Wamala agenda kuvuganya ku kifo ky’obwa Ssentebe wa Division ye Goma omuli Erisa Mukasa Nkoyoyo, nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com