EYALI nalulungi wa Uganda mu mwaka gwa 2013-2014 Stella Nantumbwe embeera y’obwanalulungi asazeewo okugissa ku bbali nasalawo okwenyigira mu kutandikawo emirimu egigasa abavubuka mu Ggwanga saako n’okubawa obumu ku bukodyo mwe bayinza okuyita okutandikawo emirimu egibabeezaawo.
Ono gamba nti nga ojjeeko abavubuka okulowoleza mu bintu bye bayiseemu omuli okufiirwa mu mirimu saako n’okulemererwa, mu ngeri ezitali zimu, balina okubeera abamalirivu okuddamu nate okugezaako olwo nga bwe banasobola okuwangula mu bulamu bwe nsi.
Nantumbwe okwogera bino yabadde awayamu ne munnamawulire wa The Newvision ku mbeera abavubuka gye bayitamu ennaku zino wakati mu kunoonya sente.
Yagambye nti ye kati okubaako waatuuse yasikirizibwa nnyo nnyina olw’obumalirivu bwalaga bwaba alina omulimu gwakuteko yadde alinawo obusente butono nasobola okufunamu ekinene, kyagamba nti nabavubuka balina okugoberera enkola eno, saako n’obutaggwamu maanyi nga balina kye bagoba okutuusa nga bakifunye.
“Obumalirivu kintu kikulu nnyo naddala nga olina kyokola kubanga bwosimba essira ku mulimu ne bwe guba mutono era nga tofunamu nnyo okusooka, naye bwobanga omaliridde tewali kiyinza kukujja ku mulamwa saako n’okukulemesa okweyongera mu maaso n’owangula” Nantumbwe bwe yagambye.
Era agamba nti ye kati essira alitadde nnyo kukuyamba abavubuka n’abakyala okutandikawo emirimu saako n’okugirabirira okusobola okwebezaawo gye bujja, era nga tasikirizibwa buwanguzi butono mu bulamu bwe.
Yadde nga yaliko Nalulungi wa Uganda era ne yetaba ne mu Pulojekiti ya Big Brother Africa eyali e South Africa, agamba nti ebyo kati yabikomya eyo, era kati afaayo nnyo okuyambako ku banaku , okwenyigira mu kuzanya emizanyo saako n’amawulire.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com