POLIISI ye Ggwanga kyadaaki efulumizza amannya amatuufu ag’abafiiridde mu bulumbaganyi bwe mmundu obwabaddewo mu kiro ekyakeesezza olw’okutaano.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agambye nti abattiddwa kuliko Joshua Ruhegyera Nteyireho 38 saako n’omukyala Merina Tumukunde 37 nga ono okuzuulibwa amannya ge amatuufu kyadiridde omwami we Mark Rugyenza owa Bugoloobi Flats okugenda mu ggwanika n’akizuula nti ye mukyala we gwe yabadde alese e Mbarara.
Agambye nti omukyala yattiddwa era omulambo gwe ne gulekebwa mu ntebe ye mmotoka ekika kya Land Cruiser Prado enzirugavu, era nga mu kifo awo basobodde okuzuulawo emmundu eyekika kya AK47 ey’omupoliisi Davis Taremwa.
Agambye nti amangu ddala nga bino biguddewo abaselikale ba Poliisi ne bitongole by’okwerinda ebilala byayanguye okujja mu kifo awabadde akabenje era ne bajjawo emirambo ne bagitwala mu ggwanika e Mulago abantu baabwe gye baze ne bazuula amannya gaabwe amatuufu era ne yetonda olw’amannya agasoose okufulumizibwa.
Anyonyodde nti abakulu mu bitongole ebikola ku kunonyereza ku misango bitandise okunoonyereza okuzuula abakoze obutemu buno bakwatibwe, kyokka nga mu kiseera kino tebannaba kuzuula nsonga lwaki bano battiddwa bombiriri.
“Kigambibwa nti omuselikale Taremwa mukwano gwa Joshua wakulusegere, nti era yamusabye amuwerekereko ku Hotel ya Hidden Treasure esangibwa Entebbe oluvanyuma gye baavudde ne beeyongerayo ku Hotel ya Millenium esangibwa e Zana gye bagenze okusisinkana bulooka wa mamotoka amanyiddwanga Suubi Robert, nga wano omuselikale wa Poliisi we yaviiridde ku mulamwa naleka emmundu mu mmotoka olwensonga zitukyanoonyerezaako.
Era bwe bavudde awo baavuze ne boolekera oluguudo lwa High Way Express mu kitundu kya Nambigirwa gye babatidde, kati ffenna tuli mu kunonyereza lwaki bano baavudde ku Hotel ya Millenium bokka ne baleka omukuumi ate nga baagenze ne mmundu.
Era tukutte n’omuselikale waffe Talemwa atuyambeko mu kunonyereza ku butemu obwabaddewo, kubanga twebuuza ekyamujje ku Hotel ya Hidden Tressure we yabadde atereddwa okukuuma ate nasalawo okuwerekera omuntu omulala e Zana.” Enanga bwagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com