EYALI Omukulembeze we Ggwanga lya Zimbabwe Robert Gabriel Mugabe eyafudde ku makya g’olwokutaano ku gy’obukulu 95, ye pulezidenti wa Zimbabwe eyasooka okuva ng’efunye obwetwaaze.
Ono abadde amaze akabanga ng’obulamu bwe butawaanyizibwa, era abadde ajjanjabirwa mu Ggwanga lya Singapore okuva mu gw’okuna omwaka guno.
Mugabe yanaanulwa okuva mu bukulembeze mu November wa 2017 abakulira amaggye ge Ggwanga nga kino kye kyaggalawo obukulembeze bwe obwali bukulungudde emyaka 30.
Yasooka kubeera Katikkiro oluvanyuma ne yesimbawo nawangula okulonda kwa Zimbabwe mu 1980 mu kulonda kwa Zimbabwe okwali kusoose okuva lwe yafuna obwetwaze era n’aafuuka Katikkiro. Mu 1987 ekifo kyobwa Katikkiro yakiggyawo n’efuukamu Pulezidenti.
Mu myaka gye ku ntebe egyasooka Bannazimbabwe baamwenyumirirzaamu nnyo olwokugaziya ebyobulamu n’ebyengigiriza eri bannansi Abaddugavu.
Naye kino kyakosa nnyo ebyenfuna by’eggwanga era mu myaka gy’obufuzi bwe egyasembayo gyajjulamu ebikolwa ebyokulinnyirira eddembe ly’obuntu n’obuli bw’enguzi.
Eyamusikira Pulezidenti Emmerson Mnangagwa, yalze okunyolwa kwe ku kufa kwa Mugabe n’agamba nti Mugabe abadde omu ku bataata b’eggwanga era empagi mu kununula Zimbabwe.
Mugabe yazaalibwa nga February 21 1924, mu Rhodhesia nga bwe yayitibwanga mu biseera ebyo.
Yasibwa okumala emyaka 10 awatali kuwozesebwa olw’okuwakanyanga enkola za gavumenti eyaliko mu 1964.
Mu 1973, ngali mu kkomera yalondebwa okuba pulezidenti w’kibiina kya Zimbabwe African National Union (Zanu), era yali omu ku baakitandikawo.
Alese abaana bana n’omukyala Grace Mugabe, mu bubaka bwe omukulembeze wa Zimbabwe aliko kati Emmerson Mnangagwa agambye nti basaliddwa nnyo omukulembeze owamaanyi, gwe babadde batwalanga Taata wa Zimbabwe okuva bwe yafuna obwetwaze okuva ku bazungu, saako n’omutima gwe Ggwanga gwabaddenga alaga buli kaseera.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com