EKKANISA ya Uganda era ebuna wonna olwaleero efunye Ssabalabirizi omuggya Rt. Rev. Dr. Stephen Samuel Kazimba Mugalu era nga ono yabadde omulabirizi w’obulabirizi bwe Mityana.
Tukuletedde ebyafaayo bye mu bujjuvu.
Kazimba yazalibwa omwami Besweri Kaddu n’omukyala Jessica Nanyonjo nga 15, 08, 1962 ku kyalo Gulama ekisangibwa mu gombola ye Najja mu Disitulikiti ye Buikwe mu Ssaza lye Kyaggwe.
Ono era ye mwana asooka mu maka ga kitaawe ne nnyina, Kazimba kitegeeza omusajja omuzimbi, era nga elinnya lino yalifuna okuva ku Jjajjawe Kazimba eyali omuwereza mu kkanisa ye Kinoni mu busumba bwe Gulama e Nyenga mu Buikwe.
Wabula ono yakula ne Nnyina yekka e Makindye, era nga yatwala obuvunanyizibwa okukuza omwanawe, mu kusoma yatandikira mu ssomero lya Gakuwebwa munno Primary School ne Lusaka Primary.
Wano obulamu tebwali bwangu nnyo kubanga yayita mu buzibu bungi okufuna ebisale bye ssomero, naye mukama nassa ekisa ku kojjaawe omugenzi Emmanuel Mukasa eyamuwerera okusobola okumalako siniya mu ssomerolya Seeta College Mwanyangiri elisangibwa mu gombolola ye Nakisunga mu Disitulikiti ye Mukono.
Yabatizibwa Canon Y.Baddokwaya nga 22.04.1973 mu kkanisa y’omutukuvu Lukka e Kibuye, era nga ono yegombanga nnyo abaana banne abayagalanga okubatizibwa naddala mu nnaku Canon Baddokwaya ze yajjanga ku ssomero lyabwe nga bato.
Yassibwako emikono eyali Omulabirizi we Namirembe mu kiseera ekyo, omugenzi Misayiri Kawuma nga 22.09.1979 mu kkanisa ye Namataba e Nagojje.
Okuyitibwa kwe kwatandikira mu kusomesa baana abato mu Sunday school, mu mwaka gwa 1979 nga yakamala okussibwako emikono.
Wano weyatandikira obuwereza mu kkanisa nga akyali mu siniya, yegatta kibiina kya bayimbi eky’ekkanisa ye Madudu mu 1980, oluvanyuma nafuulibwa omusomesa wa baaana abagenda okussibwako emikono mu mwaka 1981 okutuuka mu 1983.
Wano yafumbiriganwa ne Mukyalawe Margret Naggayi Bulya Kazimba nga 07.01. 1984, era nga kati balina abaana 4 nga bonna balenzi.
Bano kuliko Kisakye Moses Mugalu, Muwanguzi Peter Kyeswa, Musasizi Enoch Kazimba ne Kwagala Joseph Kazimba, naye olwokuba okuyitibwa kwe ne Margret balinamu okuyamba ku baana abatalina mwasirizi, beegattibwako abaana abalala, ne baweza Famire ya bantu 20.
Nga 01.01.1884 Kazimba yeewayo eri katonda mu butongole, era nakkiriza okuwereza Mukama Katondawe n’omwanawe Yesu Christo, essuubi lye lyalabisibwa mangu era nasalawo okuwereza Katonda n’omutima gwe gwonna.
Mu bigambo bye Dr. Kazimba atera okwogera nti Katonda yazigya mu kayumba ake ssubi nanteeka mu maka g’obwaPulezidenti era nga enjiri ye ejjumbirwa nnyo abangi kubanga abuulira ebintu ebikwata ku muntu wa bulijjo.
Obukulembeze bwe yabutandikira Baskerville Theological College Ngogwe mu 1985 nasindibwa e Lugazi mu kkanisa y’omutukuvu Petero.
Mu 1988 – 1990 yagenda okutendekebwa mu Uganda Martyrs’ Seminary naafuna ebbaluwa y’obusumba era yatikkirwa omugenzi Omulabirizi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo, era nakuzibwa okufuuka Vvikka w’obusumba bwe Nakibizzi mu 1990-1994.
Mu 1994-1996 yamaliriza okusoma Dipulooma mu bye diini mu ttendekero lya basumba e Mukono, era nasindikibwa mu busumba bwe Katente nga Omusumba omukulu.
Mu mwaka gwa 1999 yaggibwayo eyali omulabirizi w’obulabirizi bwa Mukono mu kiseera ekyo Micheal Ssenyimba, natwalibwa ku lutikko ya batukuvu Firipo ne Andereya e Mukono, okubeera Vvikka mu 2000-2001, oluvanyuma yalondebwa okufuuka Diini wa Lutikko eno nga adda mu bigere bya Canon Jackson Matovu naye oluvanyuma eyafuuka Omulabirizi wa Central Buganda.
Mu 2002 okutuusa 2003 yamaliriza Diguli ye ey’okubiri mu bye diini gye yakolera mu ttendekero lya western theology seminary elisangibwa mu Ggwanga lya America mu 2004 era naasigala nga y’akulira lutikko ye Mukono.
2004-2007 Kazimba yafuna ekitiibwa ky’obwa Canon okuva ew’omulabirizi Eria Paul Luzinda Kizito, oluvanyuma lw’okufuna diguli ey’okusatu mu ttendekero lya Western Seminary mu America.
Oluvanyuma yalondebwa okufuuka Omulabirizi we Mityana ow’okuna nga 26.10.2008 nga adda mu bigere by’omulabirizi eyaliyo Dr. Dunstan Kopriano Bukenya, okutuusa olwaleero lwalondedwa okufuuka Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com