OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwa Disitulikiti ye Mukono Emmanuel Mbonye yavudde mu mbeera ku lw’okutaano nalagira ba kkansala 2 okufuluma mu lukiiko lwa Disitulikiti olwabadde lugenda mu maaso nga entabwe yavudde ku kuba nti bagenze mu maaso ne batumbula eddoboozi lya Vvidiyo ya wattsup eyalekanidde waggulu ne sasamaza abakiise n’atuuze abaabadde mu kisenge awateserezebwa.
Abagobeddwa kuliko avunanyizibwa ku bifulumizibwa mu Disitulikiti era nga ye kkansala w’abavubuka Faisal Kigongo saako n’avunanyizibwa ku byensimbi era nga ye mukyala akiikirira egombolola ye Nagojje Anna Lubuulwa.
Kigambubwa nti wakati nga olukiiko lugenda mu maaso Kigongo yajjeyo essimu naabaako obubaka obwabadde mu vvidiyo bwe yalaze munne Anna Lubuulwa kyokka mu butanwa eddoboozo lye ssimu neliwogganira waggulu, ekyaleesewo akatabanguko mu lukiiko era Sipiika nasalawo okubagobera wabweru, era nabagaana okudda.
Sipiika Mbonye mu kwogerako ne bannamawulire yagambye nti, ba kkansala kye baakoze kikontana n’amateeka agafuga entula z’enkiiko za Disitulikiti era nagamba nti kino yakikoze okusobola okuzzaamu abakulembeze empisa saako n’okuwa ekitiibwa enkiiko.
Yagambye nti tagenda kukkiriza bakulembeze kweyisa mu ngeri etali yabugunjufu, nagamba nti ba kkansala bwe baali bayingira obukulembeze baasomesebwa amateeka agafuga enkiiko nga bwe bagamenya balina okukangavvulwa.
Yayongeddeko nti agenda kubawandikira mu butongole akubamanyisa amateeka g’ebamenye.
Olvanyuma olukiiko lwawedde nga abakiise basazeewo okwongera okutunulira embeera ye nguudo mu Disitulikiti, eby’okwerinda saako n’enkulakulana eyawamu mu Disitulikiti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com