SSENKAGGALE we kibiina kya Democratic Party Norbert Mao asekeredde Minisita w’amakolero Evelyn Anite, namutegeeza nti amaziga ge yeekaabya ennaku zino tegalina kye gagenda kumuyamba okujjako asale amagezi ayabulire ekibiina kya NRM yeegatte ku ludda oluvuganya Gavumenti afune ku mirembe.
Mao agamba nti abamafiya Anite baagamba okwagala okumutta ate bali mu Gavumenti yenyini gyawereza ate nga Minisita, namugamba nti alina okukomya okukankana kubanga yasalawo kwegatta mu mazina ga nkima kati alina okukkiriza emikira gyazo gimukooneko.
“Nze ndowooza nti eky’okulekulira omulimu mwanyinaze Anite gwalimu kye kisingako kubanga bwaba agamba nti bamuyigga kati ate akyakolaki mu Gavumenti” Mao bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde ku City Hall olunaku lw’okubiri mu lukungaana lwabannamawulire olwa buli wiiki olw’ekibiina kya DP, era namujjukiza nti buli muntu avaayo n’alwanyisa akabinja ka bamafiya attibwa nga bwe baakola omuselikale wa Poliisi Mohammed Kirumira bwe yali abasojja ku luwonzi.
Yanyonyodde nti ddala kituufu kyetaagisa okubaawo okunonyereza ku kitongole kya UTL ne mivuyo egikyetobeseemu gigonjoolwe sso ssi kwagala kukitunda nga abakulu mu Gavumenti kye baagala okukola.
Yagambye nti Anite okumanyibwa lwe lunaku lwe yafukamira mu maaso ga Pulezidenti Museveni, namusaba akomewo okwesimbawo nga tavuganyiziddwa okubeera Ssentebe we kibiina kya NRM.
Minisita Anite nga 19 omwezi guno yavaayo nategeeza nti obulamu bwe buli mu katyabaga olw’abantu be yayita abamafiya abeesomye okumujja mu bulamu bwe ensi eno, nga entabwe eva ku ye kuyingira mu bye nzirukanya ye mirimu mu kitongole kya Gavumenti eky’ebyempuliziganya ki UTL.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com